Poliisi ekutte omuwala ‘Slay Queen’ Nice Twikirize Mbabazi ku misango gy’okutta muganzi we Justus Rugyengye, eyali omutuuze ku kyalo Mbalwa mu ggoombolola y’e Namugongo mu Monicipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso.

Rugyengye yafudde mu ngeri atategerekeka ku Lwokuna, ekyawaliriza mukyala we Charlotte Rugyengye, okwekubira enduulu ku Poliisi y’e Bweyogerere.

Charlotte yaddukidde ku Poliisi oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti bba afudde nga n’omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro lye Gwatiro e Bweyogerere kyokka yavudde awaka ng’ali mu mbeera nnungi.

Ku Poliisi, Charlotte agamba nti yavudde awaka ku kyalo Mbalwa nga bba Rugyengye mulamu bulungi, kwe kugenda e Kajjansi okutambuza emirimu ng’omuwaabi wa Gavumenti.

Agamba nti ku ssaawa 9 ez’akawungeezi, yakubidde bba essimu kyokka teyakwata.

Mungeri y’emu agamba nti ku ssaawa 10 ez’akawungeezi, yafunye essimu okuva eri mulamuwe nti alina okudda awaka kuba bba yabadde afudde.

Charlotte okutuuka mu ddwaaliro, nga kituufu bba yafudde dda.

Charlotte era agamba nti okubuuza abasawo ekisse bba, yategeezeddwa nti omulambo guleeteddwa omukyala Nice Twikirize Mbabazi n’omusajja Eria Serunkuma.

Olw’enjgeri bba gye yafuddemu, omukyala Charlotte kwe kuddukira ku Poliisi y’e Bweyogerere ng’asaba Poliisi okunoonyereza ku kyavuddeko bba okufa.

Poliisi yasobodde okweyambisa kkamera eziri ku ddwaaliro, okuzuula Nice Twikirize Mbabazi ne Eria Serunkuma.

Nga batuuse ku Poliisi, omukyala Mbabazi agamba nti omusajja Rugyengye abadde muganzi we okumala emyaka 7 era wafiiridde nga balina omwana omu, myezi mwenda (9).

Wadde Poliisi eri mu kunoonyereza ku musango gw’obutemu guli ku fayiro namba DEF 005/2022, Mbabazi ne Serunkuma, bagiddwako sitetimenti.

Slay Queen Mbabazi agamba nti Rugyengye yazirise ne bayoolamuyoole okumutwala mu ddwaaliro kyokka yafiiridde mu kkubo. Mungeri y’emu agamba nti Serunkuma avuga Sipesulo era mukwano gwe, nga yamukubidde essimu, okumutwala mu ddwaaliro.

Mu sitetimenti ku Poliisi, Mbabazi agamba nti yabadde mu fumbiro ng’afumbira bba mmere, okudda mu nnyumba ng’ali ku ttaka, omwana ali yekka azannya.

Okumukwatako ng’ali mu mbeera mbi, era amangu ddala yakubidde Serunkuma essimu okuleeta emmotoka, okumutwala mu ddwaaliro, ekyembi yafudde bali mu kkubo.

Rugyengye abadde alina ennyumba ezipangisibwa n’amadduuka e Namugongo ne Bweyogerere.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti balinze alipoota y’abasawo, okuzuula ekituufu ekyasse Rugyengye.

N’omukozi w’awaka eyasobodde okuyamba Mbabazi okuteeka Rugyengye mu mmotoka namba UBH 765S, okumutwala mu ddwaaliro lya Gwatiro, naye agiddwako sitetimenti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=qU5sA9oSAE4