Abasawo mu ggwanga abegattira mu kibiina kya Uganda Medical Association (UMA) bawanjagidde ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni okuddamu okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2026, ekisanja eky’omusanvu (7)
Pulezidenti Museveni myaka 78 yakwata obuyinza mu 1986 kyokka abasawo bagamba nti alina okuddamu okwesimbawo mu 2026.
Wabula abasawo nga bakulembeddwamu Pulezidenti waabwe Dr Samuel Odongo Oledo bagamba nti Museveni agwanidde okuddamu okwesimbawo.
Nga basinzira e Kololo mu Kampala, mu musomo gw’okusomesa abantu okwagala eggwanga lyabwe, Dr Oledo yakulembeddemu basawo banne okufukamira ku ttaka nga basaba Pulezidenti Museveni okutaasa eggwanga, 2026 okudda.
Dr Oledo agamba nti Katonda yatuwa Pulezidenti Museveni era asobodde okuyamba okuyimusa embeera zaabwe.
Mungeri y’emu agamba nti ng’abasawo bamwekebeze nti asobola, alina amaanyi, alina buli kimu ekyetaagisa era bamusabye okuyamba eggwanga, 2026, okuddamu okwesimbawo, okusobola okutwala eggwanga mu maaso, Uganda etuuke ku ntikko.
Ate Pulezidenti Museveni yasabye abavubuka okweyambisa Pulogulamu za Gavumenti omuli emyooga okwekulakulanya.
Agamba nti Gavumenti yakuwagira omuvubuka yenna singa alaga nti avuddeyo mu kulwanyisa obwavu.
VIDIYO!
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=nDdhqR1q4Xg