Ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye, bitandiise okunoonya omuzigu ku by’okutta Asikaali mu Tawuni Kanso e Wobulenzi mu disitulikiti y’e Luweero, oluvanyuma emmundu netwalibwa.
Asikaali Leone Odongo myaka 20, abadde akuuma ‘Advance Smart Micro Finance’ mu zzooni ya Modern mu Katawuni k’e Wobulenzi nga yattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo nga zigenda mu ssaawa 1.
Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Modern, Ivan Ssebuufu, omuzigu yazze nga yeefudde omuntu omulalu, ng’ali mu ngoye zijjudde ebituli, nga mu kiveera kye yabadde akutte, mwe yabadde atadde emmundu, gye yasobodde okweyambisa okutta Asikaali n’okutwala emmundu ye.
Ssebuufu awanjagidde ekitongole kya Poliisi okuyamba okunoonya omusajja omutemu kuba kati alina emmundu 2 era abatuuze ku kyalo bali mu kutya.
Ate Ssentebe wa Tawuni Kanso y’e Wobulenzi, Moses Ssebalamu, asobodde okulondoola abatemu, okumala eddakika eziwerako, kyokka oluvanyuma omuzigu asobodde okudduka, ekyongedde okutiisa abatuuze.
Ssebalamu agamba nti naye asobodde okulaba ku mutemu kyokka olw’okutya, yasobodde okudda mu nnyumba, okusobola okutegeeza Poliisi ku ssimu.
Ate akola ng’omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah omuli Luweero Patrick Lule, agamba nti wadde basobodde okweyambisa embwa ezikonga olusu, omutemu asobodde okudduka.
Lule agamba nti mu kiseera kino, ebitongole byonna okuli Poliisi n’amaggye, bayungudde bakkomando okunoonya, omutemu n’okuggya emmundu mu mikono emikyamu.
Mu Uganda, abazigu begumbulidde okulumba Poliisi okutta abasirikale n’okubba emmundu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Wabula omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni agumizza eggwanga ku nsonga y’ebyokwerinda kyokka agamba nti obulumbaganyi obuzze bukolebwa, kirabika mulimu omukono gw’abatujju b’akabinja ka Allied Democratic Forces (ADF).
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=XWuJecOD5rY