Bishop Patrick Okabe, omubaka we Serere mu Palamenti y’eggwanga, afiiridde mu kabenje k’emmotoka ne ne mukyala we Christine Okabe.

Okusinzira ku mawulire getufunye, galaga nti emmotoka ya Bishop Okabe namba UBK 995F Toyota land Cruiser yeetomedde ne lukululana y’e Kenya namba KCX 071K, Isuzu  box body.

Akabenje

Akabenje kabaddewo enkya ya leero ku Mmande ku kyalo Naboa ku luguudo oluva e Mbale – Tirinyi era mu mmotoka, Bishop Okabe abaddemu ne mukyala we Christine Okabe, ddereeva we ategerekeseeko erya Jacob kyokka Okabe afiiriddewo.

Omulambo gwa Okabe gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Mbale n’omulambo gw’omukyala ate ddereeva Jacob ali mu ddwaaliro e Mbale ng’ali mu mbeera mbi.

Bishop Patrick Okabe

Joel Namisi, Pasita mu kkanisa ya Faith Ministries eyatandikibwawo Okabe, agamba nti mukamaawe Bishop Okabe afiiriddewo.

Namisi agamba nti lukululana eremeredde omugoba waayo kwekuyingirira emmotoka ya Bishop Okabe.

Omubaka Bishop Okabe abadde akola ebintu eby’enjawulo era yabadde nannyini ssomero lya Rhema High school.

Omwogezi wa Poliisi y’ebidduka, Nampiima Faridah agamba nti ddereeva wa Isuzu Box Body adduse oluvanyuma lw’akabenje era mu kiseera kino aliira ku nsiko.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ICYn3OtAhs4