Maama w’omwana eyakubiddwa abawala ku by’okulwanira omusajja, awanjagidde abantu okuvaayo okumukwasizaako okutuusa ng’afunye obwenkanya.

Obutambi, obulaga abawala nga bakuba omwana Pretty Nicole bweyongedde okutambula ku mikutu migatta abantu omuli Face Book, WahatsApp n’emirala nga kigambibwa, yakubiddwa olw’okusigula ‘Boyfriend’ wa mukwano gwe.

Mu katambi, Nicole yakubiddwa emiggo, okumuyiira amazzi nga mu kiseera kino, ali mu mbeera si nnungi.

Maama Aisha Kwagala

Wabula nnyina Aisha Kwagala nga mutuuze mu disitulikiti y’e Mpigi, agamba nti muwala we, akyali muto, myaka 14, nga kiswaza okumutimpula emiggo ku by’okulwanira omusajja.

Agamba nti omwana Nicole abadde yakava awaka nga yaguddewo ekigwo, okulaba vidiyo nga muwala we bamukuba.

Maama Kwagala asabye ebitongole ebikuuma ddembe okumuyamba, okunoonya obwenkanya, abawala bonna abali mu katambi, bakwatibwe ku misango gy’okukuba muwala we.

Maama

Webwazibidde olunaku olw’eggulo, nga Poliisi ekutte omuwala omu Kafta Queen ali mu gy’obukulu 18.

Okunoonyereza kulaga nti Kafta Queen, yakubira Nicole essimu okuggya ku Pate y’amazaalibwa ge wabula bwe yatuuka nga yesuunga kulya mmere, kusala cceeki n’okunywa eby’okunywa ate ne bamutimpula emiggo.

Kafta Queen ne banne, balumiriza Nicole okwambala obugoye bu kokoonya ate kiwala kito kirina ffiiga, ekyamwanguyidde okusigula ‘Boyfriend’ wa munne.

Luke Owoyesigyire

Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, agamba nti wadde Kafta akwatiddwa, okunoonya banne, kuli mu ggiya nnene.

Kafta Queen mu kiseera kino ali ku Poliisi ya Kira.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=LoIokIkitf8