Kyaddaki Poliisi eyimbudde omukyala eyakwatiddwa olwa muganzi we omusuubuzi, okufiira mu loogi wakati mu kusinda omukwano.
Omukyala Adania Ratio yakwatiddwa olwa Muganzi we omusuubuzi Ali Mustafa myaka 25 okufa wakati mu kwesa empiki nga bali mu loogi ya Avenue mu kibuga Arua ku ssaawa 3 ez’ekiro.
Ku Poliisi, omukyala Adania agamba nti Mustafa nga mutuuze we OZU cell, Kenya ward mu Arua wakati mu kusinda omukwano, yazirise omulundi gumu era yagudde wansi mu kisenge kya loogi mu kiro, ky’olunnaku Olwokusatu, nga 25, omwezi guno ogwa Janwali, 2023.
Olw’okutya, Adania yakubye enduulu okuyita abakozi ku loogi okuyamba, okutuuka nga Mustafa amaze okufa.
Poliisi yayitiddwa, omulambo ne gutwalibwa mu ddwaaliro ekkulu erya Arua okwekebejjebwa okuzuula ekituufu ekivuddeko Mustafa okufa wakati mu kikolwa.
Wabula sitetimenti ya Poliisi n’abasawo, Mustafa yafudde nga kivudde ku misuwa okwesiba wakati mu kikolwa era y’emu ku nsonga lwaki n’omukyala ayimbuddwa.
Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti Adania yabadde akwatiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.
Enanga era agamba nti emisango gy’abantu okufiira mu loogi gyeyongedde nga kivudde ku bintu eby’enjawulo omuli okweyambisa ebiragaragala.
Ate Poliisi y’e Pallisa ekutte omusawo Dr. Naaya Jesse okuva ku ddwaaliro ekkulu e Pallisa ku misango gy’okusaba omukyala ssente, eyabadde alemereddwa okuzaala.
Dr. Naaya yabadde asabye omukyala ssente emitwalo 20.
Wabula bba, yasobodde okuddukira mu offiisi ya RDC we Pallisa ne Poliisi okwemulugunya ku nneyisa y’omusawo Dr. Naaya.
Fred Enanga agamba nti Dr. Naaya akwatiddwa ku misango gy’okulya enguzi, okweyambisa offiisi mu ngeri emenya amateeka era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.
Ebifa mu ggwanga ebirala – https://www.youtube.com/watch?v=EEFhBRpwGZg