Abatuuze ku kyalo Bumakuma mu ggoombolola y’e Buwatuwa mu disitulikiti y’e Namisindwa bakyali mu kutya olw’omutabani okutta kitaawe olw’obutakaanya ku ttaka.
Omutabani ategerekeseeko erya Wetaya myaka 24 yatemyeko kitaawe omutwe Wilson Masai myaka 70, abadde omutuuze ku kyalo ekyo.
Okusinzira ku batuuze, taata Masai abadde alumiriza mutabani we Wetaya okutunda ettaka lyonna n’ebintu byonna ebiriko omwaka oguwedde ogwa 2022.
Olw’obusungu obungi, taata yabadde asuubiza mutabani we nti tagenda kumuwa kintu kyonna wadde ttaka olw’okusiwuuka empisa era kiteeberezebwa y’emu ku nsonga lwaki omutabani yamutemyeko omutwe ku Lwokutaano.
Omutabani Wetaya yadduse okuva awaka n’ejjambiya gyeyakozeseza okutta kitaawe.
Sam Kundu, Ssentebe wa LC3 mu ggoombolola y’e Buwatuwa, agamba nti bali mu kunoonya Wetaya okumukwasa Poliisi ku misango gy’okutta kitaawe.
Mungeri y’emu alabudde abatuuze okukomya okutwalira amateeka mu ngalo, nga balina okweyambisa Poliisi singa bafuna ekizibu kyonna.
Ate asikaali abadde akuuma Kampuni ya EBBO SACCO Limited ettabi lye Kinoni mu disitulikiti y’e Kiruhura aliira ku nsiko oluvanyuma lw’okutta Asikaali munne olw’omukazi.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi ASP Samson Kusasira, ettemu libadde mu katawuni k’e Kinoni mu ggoombolola y’e Kinoni, Asikaali Didas Kiiza okuva mu kampuni ya New Uganda Securico Company Limited asse munne ategerekeseeko erya Abel.
Abel akubiddwa essasi ku mutwe era afiiriddewo mbu abadde ayagala mukyala wa Kiiza.
Kasasira agamba nti Kiiza oluvanyuma lw’okutta Abel, yadduse era kati aliira ku nsiko.
Kasasira agamba nti Poliisi y’e Kiruhura eyingidde mu nsonga ezo era okunoonyereza kuli mu ggiya nnene.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=UbxpktTPtVc