Bannamateeka ba Allan Ssewanyana omubaka we Makindye West ne Kawempe North, Muhammad Ssegirinya, balemeddeko nga betaaga okumanya abantu abatuufu, abenyigira mu kutta abantu abasukka 20.

Emisana ga leero, kkooti enkulu e Masaka, ebadde ekuubirizibwa omulamuzi Lawrence Tweyanze, ekkiriza okusaba kw’ababaka okweyimirirwa.

Ssewanyana ne Ssegirinya, bakulungudde ku limanda emyezi 16 ku misango omul obutemu, obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju, bukya bakwatibwa nga 7, September, 2021.

Mu kkooti, nga basinzira ku nkola eya ‘zoom’ okuva mu kkomera e Kigo, omulamuzi abayimbudde ku bukadde 20 buli omu.

Nga bali mu kkooti e Kigo ku zoomu

Oludda oluwaabi, nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka, ku lwa ssaabawaabi wa Gavumenti, basabye kkooti, ne bagyayo eky’okulemesa ababaka okufuna okweyimirirwa.

Ate abantu ababeyimiridde okuli omubaka we Kalungu West Joseph Ssewungu, Meeya w’ekibuga Masaka Florence Namayanja, eyaliko omubaka we Lubaga North Moses Kasibante ne Kansala we Kawempe Thomas Bagonza, basabiddwa obukadde 50 buli omu nga zi zabuliwo.

Omulamuzi Tweyanze, abalagidde okweyanjula mu kkooti enkulu mu Kampala ewuliriza emisango gya bakalintalo, omulundi gumu buli bwenzi.

Abasibe baleese bannamateeka okuli Caleb Alaka, Medard Ssegona ne Elias Lukwago era bagamba nti wadde bakkiriziddwa okuyimbulwa okufuna obujanjabi, ani yatta abantu e Masaka?

Bannamateeka, bagamba nti ekya Ssegirinya ne Ssewanyana okusibwa ebbanga erisukka omwaka omulamba nga tewali bujjulizi, Gavumenti erina okulaga abantu b’e Masaka ani yatta abantu baabwe.

Bannamateeka begatiddwako omukulembeze w’oludda oluvuganya mu Palamenti, Mathius Mpuuga Nsamba.

Omulamuzi Tweyanze okuwa Ssegirinya ne Ssewanyana omukisa okuva mu kkomera, kiwadde aba famire essanyu, bannakibiina ki NUP, ssaako ne mikwano gya basibe.

Maama wa Ssegirinya, Justine Nakajumba atendereza omulamuzi okuyimbula mutabani we, bannamateeka abasobodde okubeerawo okutuusa okuyimbulwa ssaako ne bannamawulire, abasobodde okutambuza ensonga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=IxFq9J2JG2M