Abasawo b’ekinnansi bawonye emiggo gy’abatuuze, webakwatiddwa ku misango gy’okutta omwana.
Omwana Butanakya Alvin myaka 4, yabuze ku Lwokuna ku makya ku ssaawa nga 4 ne banoonya omwana ekyalo kyonna nga talabikako.
Omwana abadde abeera ne jjajjaawe Lutwama Robert myaka 60 ne Kilikumwino Annet.
Butanakya yabadde azannya ne bato banne era yatwaliddwa abantu abatamanyiddwa.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokutaano, abatuuze bagudde ku mulambo gwa Butanakya mu ssamba ly’ebikajjo mita 50 okuva awaka.
Omulambo gwazuuliddwa nga gusiigiddwa evvu, ebiwundu omubiri gwonna nga n’omukono gwa ddyo, gwatwaliddwa.
Poliisi yasobodde okuleeta embwa ezikonga olusu era zatambudde okutuuka ku ssabo lya Buluuba Balati ne Balikoowa Fred.
Omulambo, gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Kamuli wakati mu batuuze okulukusa amaziga.
ASP Kasadha Micheal, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga North, agamba nti Buluuba ne Balikoowa baatwaliddwa ku Poliisi y’e Kamuli okuyambako mu kunoonyereza.
Kasadha awanjagidde abatuuze okwewala okutwalira amateeka mu ngalo wakati okuwa Poliisi omukisa okunoonyereza okuzuula abatemu.
Ate Poliisi mu kibuga kye Mbarara ekutte omusuubuzi ku misango gy’okusobya ku baana abalenzi 2.
ASP Samson Kusasira, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi, agamba nti omukwate ye Michael Saturday myaka 34, omutuuze ku kyalo Kilembe Cell, Nyamityobora Ward mu kibuga Mbarara.
Kusasira agamba nti, Saturday abadde asobya ku balenzi okuli myaka 17 ne 18, okutuusa ku Mmande wiiki ewedde, omu ku balenzi bwe yagenze ku Poliisi okuloopa.
Okunoonyereza kulaga nti Saturday yaleeta abalenzi okutambuza ennanaansi mu kibuga Mbarara era abadde yapangisa akazigo, abalenzi mwebasula.
Mu kazigo mubadde musulamu abantu 8 kyokka Saturday abadde buli kiro atwala omu ku balenzi okubasobyako.
ASP Kusasira agamba nti omwana myaka 18 akebeddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mbarara nga kituufu abadde asobezebwako ate omwana omulala ow’emyaka 17, avuddeyo okuwa obujjulizi era naye essaawa yonna abasawo bagenda kumwekebejja.
Mungeri y’emu agamba nti abaana bonna batwaliddwa eri abakugu okubabudabuda.
Mu kiseera kino abaana balina obulumi nga betaaga bujanjabi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=aMXehSHi3-Q