Abategesi b’ebivvulu abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Mulla Entertainment, bawanjagidde omuddumizi wa Poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola, okuyimiriza ekivvulu kya Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr. Jose Chameleone ekya Gwanga Mujje ku Lwokutaano nga 24, Febwali, 2023.

Bano okuli Abdulwahib Karim, Kisekka Samson, Sam Ojakol ne Kirya Ashiraf, bagamba nti Poliisi erina okuyimiriza ekivvulu okutuusa nga Chameleone asasudde ssente zaabwe obukadde 150 olw’okumenya endagaano.

Ekivvulu ekya e Moroto

Mu kiwandiiko kyabwe eri omuddumizi wa Poliisi, bagamba nti nga 13, Janwali, 2023, bateekateeka ekivvulu kya Wale Wale ekya Dr Chameleone owa Island Music Empire ku Moroto Resort Hotel.

Ku lunnaku olwo, abadigize baava mu bitundu bye Karamoja eby’enjawulo ne kumulirwano mu ggwanga erya Kenya kyokka Chameleone teyalabikako.

Abategesi bagamba nti ekyo, kyavaako abadigize okutabuka era bafiirwa obukadde bwa ssente 150,000,000 omuli okusiiga erinnya lyabwe enziro.

Mu kiseera kino nga bakulembeddwamu James Muya, Maneja wa Mulla events, basabye Poliisi okuyimiriza ekivvulu kya ‘Gwanga Mujje’ okutuusa nga basasuddwa ssente zaabwe obukadde 150,000,000.

Muya agamba nti Chameleone yeyalonda ennaku z’omwezi nga 13, Febwali, 2023, kyokka oluvanyuma baategezebwa nti Chameleone yali mu ggwanga erya America nga n’ennyonyi yali emulese nga balina okuddiza abadigize ssente zaabwe.

Ekiwandiiko eri Poliisi

Bagamba nti wadde Chameleone yetoonda, alina okubawa ssente zaabwe.

Dr. Jose Chameleone yali ategese Ggwanga Mujje nga 10, Febwali, 2023 e Lugogo wabula enkuba yatonya, ekyavaako siteegi okugwa n’ekivvulu, okusazizaamu.

Wadde Uganda erina abayimbi bangi nnyo, Chameleone y’omu ku bayimbi abalina talenti y’okuyimba.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=aMXehSHi3-Q&t=30s