Kyaddaki abazungu bannansi ba America abaakwatibwa ku misango gy’okutulugunya omwana, basindikiddwa mu kkooti enkulu mu Kampala ewuliriza emisango gya bakalintalo n’abatujju okwewozaako.

Abazungu bano okuli Mackenzie Leigh Mathias Spencer myaka 32 ne mukyala we Nicholas Spencer myaka 32 bali ku misango gy’okutulugunya omwana John Kayima Spencer myaka 10.

Abazungu bombi, baggya mu Uganda mu 2017 era batuukira mu kibuga Jinja ne bafuna Kayima okuva mu kifo ekirabirira abaana ekya  Welcome Ministries Jinja, okumulabirira mu 2018.

Wabula mu 2020, basenguka okudda e Naguru mu Kampala okutambuza emirimu gyabwe.

Mu kkooti, kigambibwa baali benyigidde mu kutulugunya Kayima, nga buli lunnaku, alina okulya emmere ennyogoga egiddwa mu firiigi, emisana asiiba bwereere, ekiro asula ku lubaawo nga tekuli wadde akafaliso ssaako n’okumukuba.

Poliisi yategezebwako ba neyiba okuli omusomesa, ng’omwana ali mbeera mbi ne bakola okunoonyereza ne bakwatibwa nga ne kkamera z’omu nju, zaaliko obujjulizi bwonna.

Enkya ya leero, kkooti ya Buganda Road, ebadde ekubirizibwa akulira abalamuzi ba kkooti ento Sarah Tusiime, esindise ba Spencer mu kkooti enkulu okwewozaako.

Basindikiddwaayo ku misango 5 okuli, okukusa n’okutulugunya omwana, okusigala mu Uganda nga bakola nga tebalina biwandiiko, okubeera mu Uganda mu ngeri emenya amateeka.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joan Keko ne Ivan Kyazze, bagamba nti betegese bulungi ddala, nga batuuse mu kkooti enkulu.

Munnamateeka w’omwana Christine Tumuhairwe agamba nti balina esuubi nti omwana wakufuna obwenkanya.

Abazungu baddukira mu kkooti enkulu mu Kampala ne basaba okweyimirirwa era kkooti yakuwa ensala yaayo ku Lwokusatu nga 22, March, 2023.

Ebira ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=fWgIDif6r9o