Abakungu mu ggwanga abagambibwa okwenyigira mu kubba amabaati, bawaddeyo okwewozaako kwabwe eri Kalisoliiso wa Gavumenti, okwewozaako ku ngeri buli omu gye yafuna amabaati g’e Karamoja.
Gavumenti yagula amabaati okuyamba abatuuze b’e Karamoja abali mu mbeera mbi wabula offiisi ya ssaabaminisita yabulankanya amabaati.
Mu kiseera kino wadde Kalisoliiso wa Gavumenti ali mu kunoonyereza, ne Poliisi eri mu kunoonyereza okuzuula abenyigira mu kubba amabaati.
Okusinzira ku mukutu ogwa Daily Monitor, omwogezi wa Kalisoliiso wa Gavumenti Ali Munira, agamba nti abalina okwewozaako kuliko Baminisita 22, ababaka ba Palamenti 31 n’abakulira eby’emirimu ku disitulikiti 13.
Bano kuliko
Jessica Alupo – Amyuka Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni
Anita Among – Sipiika wa Palamenti ya Uganda
Robinah Nabbanja – Ssaabaminisita wa Uganda
Rebecca Kadaga – Amyuka ssaabaminisita asooka era Minisita w’ensonga za East Africa
Rukia Isanga Nakadama – Amyuka ssaabaminisita owokubiri era Minisita owa guno na guli mu ofiisi ya Kattikiro wa Uganda.
Matia Kasaija – Minisita w’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga lino Uganda
Judith Nabakooba – Minisita w’ettaka, amayumba n’okulakulanya ebitundu
Kitutu Mary Goretti – Minisita w’ensonga ze Karamoja
Dennis Hamson Obua – Nampala wa Gavumenti
Rose Lilly Akello – Minisita w’empisa n’obuntu bulamu
Grace Kwiyucwinyi – Minisita omubeezi owa Mambuka ga Uganda
Agnes Nandutu – Munnamawulire era Minisita omubeezi ow’e Karamoja
Jennifer Namuyangu – Minisita omubeezi o’we Bunyoro
Amos Lugoloobi – Minisita omubeezi w’ebyensimbi
Esther Anyakun – Minisita omubeezi ow’ebigwa tebiraze mu ggwanga
Alice Kaboyo – Minisita omubeezi ow’e Luweero ne Rwenzori
Grace Mary Mugasa – Minisita omubeezi ku nsonga z’abakozi
Fred Bwino Kyakulaga – Minisita omubeezi ku nsonga z’ebyobulimi
Moriku Kaducu – Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako
Wabula Robinah Nabbanja agamba nti omuntu yenna nga yafuna amabaati kyokka ne gatundibwa, balina emisango era balina okutwalibwa mu kkooti.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=5Wzg1ExQohc&t=73s