Poliisi y’e Senyi Lugazi mu disitulikiti y’e Buikwe ekutte omukyala malaaya ku misango gy’okutta omuvubi.

Omuvubi Muyima Maisowe myaka 25 ng’abadde musajja muvubi e Senyi yattiddwa malaaya Arach Esabel myaka 30.

Olunnaku olw’eggulo ku Mmande nga 10, April, 2023 ku ssaawa nga 10 ez’okumakya mu zzooni y’e Senyi A, mu ggoombolola y’e Kobba mu disitulikiti y’e Buikwe, Poliisi yafunye alipoota okuva ku Nimuro James myaka 43 ku by’okutta Muyima.

Poliisi egamba nti malaaya Arach Esabel bwe yabadde mu loogi ya Sali, yafunye obutakaanya ne kasitoma Muyima oluvanyuma lw’akaboozi.

Wakati mu kuwanyisiganya ebigambo, malaaya Esabel yafumise Muyima ekintu era yavuddemu omusaayi okutuusa okufa.

Asp Butoto Hellen, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa agamba nti omukyala Arach akwatiddwa era atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Lugazi ate omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro lya Alif Medical center okwekebejjebwa.

Butoto avumiridde ekya Malaaya Esabel okutwalira amateeka mu ngalo era aguddwako emisango gy’obutemu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=dkgiSCkJXK4