Omubuvuka Poliisi gwe yakwata ku misango gy’obubbi, asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira.

Omubuvuka Abdul Shabaz Lubega myaka 21  nga mutuuze we Kyengera-Kinaawa akaabidde mu kkooti e Nateete  omulamuzi Amon Mugezi bw’abadde amusindika ku limanda e Luzira okutuusa nga 16, May, 2023.

Mu kkooti, omulamuzi Magezi agambye nti Shabaz yeenyigira mu kubba Ttiivi 6 nga 22, March, 2023 ssaako n’okusangibwa n’ebintu ebiteeberezebwa okuba ebibbe mu loogi ‘Awoo Accomodation’ mu Lubaga.

Mu loogi, yali ne malaaya era yasangibwa wakati mu kusinda omukwano. Kigambibwa malaaya yali amuwadde ssente 10,000 okwesanyusa kyokka bwe yali akwatibwa, yali akukuluma olw’okumulemesa okufuna ku ssanyu.

Mu kwekebejjebwa, yali alina kaadi y’obulambuza ng’eri mu mannya ga Farouq Busuulwa, Kaadi ya Maria Cargo mu mannya ga Peter Kalevu, Layini z’amasiimu mu mannya ga Irene Nassozi Nabbaale n’amassimu.

Mu Uganda, abavubuka bangi bakwatiddwa mu misango gy’obubbi era kigambibwa nti kivudde ku bbula ly’emirimu mu ggwanga.

Ate Poliisi y’e Mbale ekutte omusomesa myaka 26 ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 12.

Omusomesa ono Joel Situma okuva ku Nabuyonga Primary School yakwatiddwa ku by’okudda ku mwana, asoma ekibiina ekyomukaaga (P6), namusobyako.

Mu sitetimenti ku Poliisi, maama w’omwana agamba nti omusomesa abadde asomesa omwana we buli kumakya.

Maama agamba nti omusomesa abadde asobya ku mwana we nga yeerimbika nti abadde amusomesa.

Mu kiseera kino, omusomesa atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Mbale nga n’omwana asindikiddwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa, okufuna ekituufu.

Rogers Taitika, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, agamba nti omusomesa aguddwako emisango gy’okusobya ku mwana omuto, era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=TVVbbVtm-ZI

Bya Nakimuli Milly