Ebipya byongedde okuvaayo ku kyavuddeko owa bodaboda Experito Ssemwanga okutta mukyala we Grace Mbabazi oluvanyuma naye ne yetta.
Entiisa eno yabadde ku kyalo Ndikutamadda e Masajja mu Monicipaali y’e Makindye Ssabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso.
Ssemwanga myaka 25 abadde abeera ku kyalo Rwebitakuli mu disitulikiti y’e Sembabule, yali yafuna obutakaanya ne mukyala we Mbabazi.
Mbabazi abadde apangisa akazigo e Kajjansi ku luguudo lwe Entebbe mu disitulikiti y’e Wakiso.
Okunoonyereza kulaga nti Ssemwanga yasobodde okuyingira akazigo ka Mbabazi era yamufumise emirundi egy’enjawulo okutuusa lwe yafudde.
Oluvanyuma lw’okuzuula nti Mbabazi afudde, Ssemwanga yaddukidde ku kyalo Ndikutamadda era yasobodde okwetuga mu nnyumba etanaggwa.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti Poliisi y’e Katwe, Kikajo, Kajjansi bali mu kunoonyereza ku nsonga ezo.
Owoyesigyire agamba nti bagenda kwebuuza ku famire y’omusajja n’omukyala, okuyambako okuzuula ekituufu ekyavuddeko obuzibu.
Ku lwa Poliisi, Owoyesigyire awanjagidde abantu abalina obuzibu okweyambisa Poliisi mu bitundu byabwe ssaako n’abakulembeze singa bafuna obuzibu bwonna.
Mu kiseera nga Poliisi eri mu kunoonyereza, waliwo abatuuze abagamba nti Ssemwanga yasse Mbabazi lwa busuungu.
Abatuuze bagamba nti Ssemwanga yasse Mbabazi naye ne yatta oluvanyuma lw’okukizuula nti yamulimba nti tazaalangako kyokka ng’alina abaana basatu (3) ate ng’alina n’akawuka ka mukenenya.
Waliwo ebigambibwa nti omusajja okuzuula nti mulwadde wa mukenenya, y’emu ku nsonga lwaki yalumbye Mbabazi okumutta.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ee6pAwItF_E