Poliisi y’e Namisindwa eyingidde mu nsonga okunoonyereza ku kiviiriddeko omuvubuka myaka 20 okutta omwana.
Attiddwa ye Frank Mutambo myaka 3 ng’abadde mutuuze ku kyalo Busomo mu ggoombolola y’e Bupoto.
Rogers Taitika omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon agamba nti okunoonyereza kulaga nti akawungeezi k’Olwokutaano nga 9, June, 2023 ku ssaawa nga 11, omuvubuka yasobodde okutematema Mutambo omutwe n’amaggulu okutuusa okumutta.
Mu kiseera ekyo, maama wa Mutambo yabadde agenze mu nimiro kunoonya mmere era yawulidde omwana ng’akaaba.
Maama okudduka okutuuka awaka, nga mutabani we attiddwa ng’ali wakati mu kitaba ky’omusaayi.
Wakati mu kukulukusa amaziga, maama yasobodde okukuba enduulu eyasombodde abatuuze okwabadde ne ssentebe w’ekyalo Damascas Makeme eyakubidde poliisi amassimu, okwanguwa okunoonya abatemu.
Abatuuze bagamba nti abavubuka basusizza okukozesa ebiragalalagala omuli enjaga n’ebirala ng’eyinza okuba emu ku nsonga eyaviiriddeko omuvubuka ono okutematema omwana.
Taitika avumiridde ebikolwa eby’okutwalira amateeka mu ngalo okutuusa okutta omuntu era agamba nti bagenda kunoonyereza okutuusa ng’omutemu akwatiddwa.
Mu kiseera kino omulambo gw’omwana gutwaliddwa mu ddwaaliro e Mbale okwekebejebwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=sBgu4dTn6rE