Omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Makasa Hudu Hussein avuddeyo ku butakaanya kati obuliwo wakati wa Eddy Kenzo ne Bobi Wine.
Kenzo yavudde mu mbeera olwa Bobi Wine okulowooza nti Kenzo nga Pulezidenti w’ekibiina ekitwala abayimbi ekya ‘Uganda Musicians Federation’ (UMF) ne banne, okusisinkana abakulu mu Gavumenti, bagezaako kusabiriza.
Mu bigambo bye sabiiti ewedde ku Face Book, yagambye nti, ” Wabula abafele muli bazibu. Abatuyita ba beggars, bafulumila Mu government budget every year, ate bafuna noomusaala monthly ela tebazigaanangako. Lwaki temuzigabila amalwaliro oba amasomero.
Enyindo bwojinyigiriza enyo!!
Banange mutuleke tulwanirire omulimu gwafe other wise tugenda yingira mu Politics’s wamwe direct. Mutuleke tutereze music omulimu mwagwonoona because mwaguyingizaamu eby’obufuzi fenna tunalya ku Politics?. Mwe emisaala mujifuna mu government yeemu gyemuwoza nti mulwanyisa. We are fighting for copyright and all rights for musicians ate mwe muwoza beggars, beggars how? Enough is enough”
Okuva ku Lwokutaano, enjawukana zeyongedde mu bayimbi ng’abamu bawagira Bobi Wine okuvaayo okwogera ku nsonga z’abayimbi ate abamu bagamba nti Bobi alina okwesonyiwa ensonga z’abayimbi, okuwa omukisa Kenzo okukola ku nsonga zaabwe eza ‘Copy Right’.
Wabula Hudu Hussein agamba nti bannakibiina ki NUP okulowooza nti Bobi Wine munene okusinga Katonda, balowooza tasobola kukola nsobi. Agamba nti wadde Bobi Wine muyimbi, tasobola kutuuka ku Kenzo mu kuyimba kuba Kenzo ayimbira nsi yonna.
Hudu agamba nti Bobi alina kwetonda olw’ebigambo bye., “The problem with @HEBobiwine is that his party worshippers make him feel he is “Bigger that God” and can’t be wrong. As a matter of fact, he can never reach where the likes of @eddykenzoficial have reached in music. These are global stars not beggers. Simply apologise“.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=sBgu4dTn6rE