Kyaddaki Barbie Kyagulanyi abotodde ebyama ku bufumbo bwe n’omukulembeze w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.
Mu nsi y’omukwano abakyala bangi mu ngeri y’okukuuma omukwano bakola ebintu eby’enjawulo okusanyusa baganzi baabwe.
Barbie okulaga nti ddala yatuuka mu nsonga za laavu, asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okusiima bba Bobi okumubeererawo n’okumulabirira obulungi.
Barbie nga yakazaalira Bobi abaana 4, agamba nti emyaka 21 gye yakamala ne Bobi, amulabiridde bulungi, talina kisago kyonna, tamukubangako wabula mukwano gwokka.
Ku mukutu ogwa Face Book, Barbie agamba nti, “Taata, Sebo mukama wange, Mwami wange, Omukulu Kyagulanyi. Webale kundabilila. Nembeera nga silina lubale oba nkwagulo jontaddeko mu myaka abiri mugumu jetumaze ffena? Oli musajja nyo mukwano. Sinze mwangu enyo naye ongumikilizza. Neyanziza. Neyanzeege Bobi Wine”.
Mungeri y’okulaga nti ddala Bobi akyalina omukwano gwa Barbie, naye asobodde okwongera okumusuubiza ebirungi.
Bobi Naye asobodde okweyambisa Face Book era agambye nti, “Labayo ka Smile, ate sinnaba, gwe linda tumale okulayira”.
Bobi yakuba Barbie embaga mu 2011.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=t0xLY82c7bc&t=164s
Bya Nakimuli Milly