Omuyimbi Jose Chameleone ali mu mbeera mbi era ali ku kitanda mu ggwanga lya America.
Chameleone yali yagenda mu America omwezi oguwedde mu June, 2023 okwetaba ku matikkira ga mutabani we Abba Marcus Mayanja.
Wabula Chameleone wadde ali mu mbeera mbi, asobodde okwogerako n’omuyimbi Gravity Omutujju ku ssimu okumala essaawa ezigenda mu 2.
Gravity agamba nti Chameleone mulwadde nnyo era yetaaga ssaala okuva mu bannayuganda bonna.
Gravity era agamba nti okwogera ne Chameleone ku ssimu, yabadde agenda kulongoosebwa.
Wadde baludde nga balina obutakaanya, Gravity agamba nti Chameleone yasobodde okumwetondera era ne bakaanya nti byonna bya nsi.
Asabye abayimbi bonna mu ggwanga okubeererawo Chameleone kuba mulwadde era ali mu mbeera mbi.
Gravity era agamba nti Jose Chameleone y’omu ku bayimbi abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimbi ng’eggwanga likyamwetaaga era ye ssaawa buli muyimbi okuvaayo.
Ate taata w’omuyimbi Jose Chameleone, Gerald Mayanja agamba nti mutabani we aludde nga mulwadde.
Taata agamba nti Chameleone aludde ng’alina obuzibu mu lubuto nga n’okugenda mu America, yali mulwadde.
Mungeri y’emu agamba nti Chameleone aludde ng’akolera mu buzibu ng’alina obuzibu mu lubuto.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=aTZWegttf08