Abantu 16 bafiiridde mu kabenje ku kyalo Nyanseke mu Kabuga ke Muhorro mu disitulikiti y’e Kagadi ku luguudo oluva e Kagadi okudda e Fort Portal.

Akabenje kano kaabaddewo ku ssaawa nga bbiri ez’akawungeezi k’eggulo ku Ssande nga kyaddiridde Tuleera okuyingirira Takisi.

Tuleera namba UAD 431Q yabadde eriko ebyenyanja ng’edda mu bitundu bye Fort Portal ate Takisi namba UBM 426V yabadde edda mu disitulikiti y’e Kagadi okuva e Fort Portal.

Ebikwata ku bagenzi n’abali malwaliro, tebimanyiddwa mu kiseera kino.

Okunoonyereza kulaga nti Takisi yabaddemu abantu 19 era abantu 15 baafiriddewo omuli ne ddereeva ate abalala batwaliddwa mu ddwaaliro lya Kagadi General Hospital nga bali mu mbeera mbi.

Kigambibwa Tuleeta yagaanye okusiba, kwe kuyingirira Takisi.

Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Albertine agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyavuddeko akabenje.

Bafiiridde mu kabenje mbu lwa bulagajjavu bwa ddereeva.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=7RWjCjYWpEY