Poliisi etandiise okunoonyereza ku mulambo gw’omwana omuwala ogwazuuliddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri mu kibuga Mbale.
Omulambo gwazuuliddwa mu kinnya kya kazambi ekya Total Pump Fuel Station okumpi n’omulyango gwa ppaaka ya Takisi mu kibuga Mbale ku luguudo lwe Mbale-Tororo.
Omulambo gulabiddwa abayizi ba Mbale Police Barracks Primary School olw’ekivundu ssaako n’enswera ezibadde ziva mu kinnya.
Oluvanyuma lw’okutemya ku batuuze, omulambo gwagiddwaayo nga gwa muwala ali mu myaka 25 nga gutandise okuvunda era yabadde ali mu sikaati ya bulaaka.
Rogers Taitika, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Elgon agamba nti omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro e Mbale okwekebejjebwa.
Agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ebikwata ku mukyala n’okuzuula ebikwata ku nfa ye.

Wabula abamu ku batuuze bagamba nti ku myaka 25, kirabika omuwala alina omusajja oba muganzi we nga kiswaza abantu okufa mu ngeri bwetyo.

Ebirala ebifa mu ggwanga- https://www.youtube.com/watch?v=MegALCbeNnw