Poliisi y’e Lukaya ekutte omusajja abadde yeeyita omuyambi w’abaana abawala ku misango gy’okusobya ku baana.
Nsubuga Ali myaka 35 yakwatiddwa Poliisi y’e Lukaya.
Nsubuga abadde anoonya abazadde abanoonya obuyambi nga balina abaana abawala era abadde abasuubiza okubayamba omuli okutwala abaana ku massomero.

Omusajja Nsubuga Ali


Mu kwefuula ayamba, abadde akozesa abaana era kigambibwa, abadde yakasobya ku abaana abali 20.
Abamu ku baana abasangiddwa ku Poliisi y’e Lukaya okuli myaka 7, 13, 14, bagamba nti Nsubuga yabasuubiza okubatta singa bategezaako omuntu yenna.
Ate akola ku nsonga z’amaka mu kitongole ki Theive Uganda, Namala Grace agamba nti Nsubuga kati ye ssaawa agibwe mu bantu.
Namala agamba nti Nsubuga yamusaba okumwebaza kuba waliwo abasajja abasobya ku baana ne battibwa kyokka ye teyabatta.

Namala awanjagidde Poliisi okunoonyereza okuzuula byonna ebikwata ku Nsubuga era asabye abazadde bonna okuvaayo okulwanyisa ebikolwa eby’abasajja okusobya ku baana abato.
Omwogezi wa Police mu mu bendobendo lye Masaka Twaha Kasirye, agamba nti Nsubuga tewali kumuttira ku liiso era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.

Kasirye agumizza abatuuze n’abazadde nti abalina okufuna obwenkanya ku nsonga z’abaana baabwe.
Ku lwa Poliisi, Kasirye awanjagidde abazadde obutamala gawaayo baana baabwe eri abantu abavaayo nti balina obuyambi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=d2eFMbR8zNQ