Mu kisaawe ky’okuyimba, mulimu abayimbi bangi nnyo naye kizibu omuyimbi okuyimba emyaka egisukka 5 nga y’omu ku bali ku ntikko.
Mu Uganda, wadde tulina abayimbi bangi, Wajja Victor amanyikiddwa nga Victor Ruz, y’omu ku bakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba mu nnyimba z’omukwano.
Victor Ruz akyali mulenzi muto, yazaalibwa mu 2000 mu bitundu bye Mayuge.


Yasomera ku Peterson P/S, Kyoga SS, Mehta SS ate mu 2021, yeegatta ku Victoria University.
Wadde okuva mu buto yali muyimbi, mu 2019 yaleeta akayimba ‘Love legend’, okulaga bannayuganda nti ddala alina talenti y’okuyimba.
Mu kiseera kino, Victor Ruz alina ennyimba z’omukwano mpitirivu omuli Wansala, Official, Zoya, Webale, Umbrella, Ogeza, Ndeese Love, Twesangeyo n’endala.


Olwa talenti, bangi ku bannayuganda bagamba nti kati ye ssaawa, akole konsati wabula Victor Ruz agamba nti essaawa yonna.
Lwaki afuuse ‘Juyisi’ w’abakyala:
Bangi ku bakyala bagamba nti ennyimba ya Victor Ruz ku nsonga z’omukwano, kabonero akalaga nti ategeera ensonga z’omukwano.
Wadde akyali mulenzi muto, abakyala bangi ku myaka egy’enjawulo omuli n’abo abakuliridde mu myaka, abamwegwanyiza.

Ng’omuvubuka omulala yenna, ne Victor ayinza okuba alina muganzi we wabula ensonga z’omukwano, taziteeka mu lwatu ng’abayimbi abalala.
Ebbanga lyonna ng’ali mu kisaawe ky’okuyimba, talina ntalo, muntu w’abantu, alina empisa, ate bambi alina talenti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=IHNegltZ9s8&t=157s