Ebitongole byokwerinda mu ggwanga erya Ethiopia bikoze ekikwekweeto mu Hotero ez’enjawulo, ebbaala n’ebifo ebisanyukirwamu okunoonya abantu abali mu kutambuza obuseegu.
Kigambibwa mu kibuga Addis Ababa, abantu babadde beyongedde okutambuza obuseegu n’okusingira ddala abavubuka nga benyigira mu mukwano ogwebikukujju.
Mu kikwekweeto, ebitongole by’okwerinda binoonya abantu bonna abali mu kutambuza obuseegu, bannanyini bifo ssaako n’abo abateekamu ssente.
Mu kiwandiiko ky’ebitongole ebikuuma ddembe ku Face Book, waliwo abantu abakwatiddwa oluvanyuma lw’okulumba ebifo eby’enjawulo omuli Guest House.
Mungeri y’emu basabye bannansi okuvaayo okulwanyisa ebikolwa ebyo, nga batemya ku Poliisi.
Mu ggwanga lya Ethiopia, kimenya mateeka omuntu yenna okwenyigira mu mukwano ogwebikukujju wabula alipoota ziraga nti ebikolwa bizze byeyongera.
Abamu ku bannansi bagamba nti abavubuka bangi okwenyigira mu bikolwa ebyo, tebalina mirimu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=K-yUDyFN9ow