Bibiino ebikwata ku Ihnebantu Jovia Mutesi, olubiriizi lwa Kyabazinga
Kyaddaki Katukkiro wa Busoga Dr. Joseph Muvawala alangiridde mu butongole nga Kyabazinga wa Busoga Isebantu William Wilberforce Gabula Nadiope IV myaka 34, bw’agenda okugattibwa mu bufumbo obutukuvu ku Lwomukaaga nga 18, November, 2023 ku Christ’s Cathedral Bugembe.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, Katukkiro Muvawala yalangiridde nga Kyabazinga bw’afunye Ihnebantu Jovia Mutesi era emikolo gy’okwanjulwa mu bazadde gyakoleddwa olunnaku olw’eggulo ku makya mu disitulikiti y’e Mayuge.
Ku mukolo, Kyabazinga yakiikiriddwa Katukkiro Muvawala ng’abadde awerekeddwako abantu ab’enkizo mu bwa Kyabazinga.
Wakati mu ssanyu, yatendereza bazadde ba Kyabazinga ne Ihnebantu, okukuza abaana obulungi.
Ebitonotono ebikwata ku Ihnebantu Jovia Mutesi:
Okusinzira ku mwogezi wa Busoga Andrew Ntange, Ihnebantu Mutesi mukyala musoga okuva e Mayuge era muwala wa Stanley Bayole, RDC we Bulambuli.
Bayole yali musajja wa Forum for Democratic Change (FDC) okutuusa mu 2015 lwe yasalawo okwegata ku National Resistance Movement (NRM).
Yaliko ssentebe wa LC 3 mu Tawuni Kanso y’e Mayuge okutuusa mu 2011 lwe yawangulwa.
Ihnebantu Mutesi ava mu famire ya byabufuzi nga ssengaawe Sarah Namumbya yaliko omubaka omukyala owa Mayuge ate Kojjaawe Richard Kudeeeba yaliko Kamisona mu kakiiko k’ebyokulonda mu kibiina ki FDC.
Taata wa Ihnebantu Mutesi ava mu kika kya Baise Mugose ate maama Mugabwe.
Dr Judith Nalukwago agamba nti yasoma emyaka 6 ne Ihnebantu Mutesi ku St Mary’s College Namagunga mu 2015 era agamba nti yali muntu wanjawulo nnyo.
Ku Yunivasite e Makerere, Ihnebantu Mutesi yasoma era yafuna diguli mu byenfuna.
Daily Monitor eraga nti Ihnebantu Mutesi ng’ali ku Yunivasite, yali asula mu Olympia Hotel, Kikoni.
Nga 13, September, 2023 ku bikujjuko by’amatikkira ga Kyabazinga e Kigulu mu disitulikiti y’e Iganga, Katukkiro Muvawala agamba nti Kyabazinga agenda kutambula ne Ihnebantu Mutesi era asabye abantu okubaawo mu bungi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=vySce8wbQzs