Omusajja mu disitulikiti y’e Namisindwa yeetutte yekka ku Poliisi oluvanyuma lw’okutemako mukyala we omutwe olw’obutakaanya wakati waabwe.
Omusajja omutemu Vincent Bwayo, mutuuze ku kyalo Watoko mu ggombolola y’e Bumali mu disitulikiti y’e Namisindwa.
Okusinzira ku Nicolas Nasaala, omu ku batuuze, Bwayo yatta mukyala we ku Lwokutaano ekiro.

Omutemu Bwayo


Nasaala agamba nti Bwayo abadde alumiriza mukyala we Justine Wachemba myaka 23, okwagala omusajja neyiba we James Musoba.
Amyuka RDC we Namisindwa Julie Namara, agamba nti Bwayo asindikiddwa ku Poliisi y’e Namisindwa ku misango gy’okutta omuntu.
Kigambibwa Bwayo yatemyeko mukyala we omutwe okumpi ne River Salaa bwe yabadde amutwala eri Musoba gw’agamba nti musiguze.
Oluvanyuma lw’okutta omukyala, Bwayo yatutte omutwe ku mulyango gwa Musoba, oluvanyuma naddukira ku Poliisi.
Poliisi yasobodde okutwala ebitundu by’omulambo n’ekiwuduwudu mu ddwaaliro ekkulu e Mbale.
Rogers Taitika, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Elgon, agamba nti okunoonyereza kutandikiddewo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ogQcmKB7bRs