Poliisi eri mu kunoonya Sheikh n’omusajja Kiwebwa Henry nga batuuze b’e Makindye mu Kampala, abaalagidde taata okutta mutabani we nga betaaga omutwe gwe.

Taata Kizza Emmanuel nga mutuuze Lwengo, yatemyeko mutabani we Muwanguzi Agustine myaka 3 omutwe.

Mu kunoonyereza, Taata Kizza yakwatiddwa Poliisi y’e Lwengo era mu sitetimenti ku Poliisi, agamba nti omugagga Sheikh n’omusajja Kiwebwa Henry yamusuubiza ensawo za ssente nga ziri mu ddoola, singa amutwalira omutwe gwa mutabani we.

Agamba nti abadde akooye embeera embi, nga yatemyeko omutabani omutwe, afune ku ssente.

Wabula Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agamba nti wadde Kizza ali mikono gyabwe, okunoonya abaamusindika okutemako mutabani we omutwe, gukyagenda mu maaso.

Enanga awanjagidde abatuuze abalina amawulire, okuvaayo okuyambako mu kunoonyereza kwabwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DO9yDzF-zGI