Taata w’omugenzi Suzan Magara abotodde ebyama ku ngeri mutabani we gye yatibwamu mu 2018.
Taata John Gerald Magara myaka 58, musajja musuubuzi mu Kampala ne Hoima.
Olunnaku olw’eggulo bwe yabadde mu kkooti enkulu mu maaso g’omulamuzi Alex Ajiiji Mackay, taata Magara agamba nti omwana we bwe yali awambiddwa, yasabibwa ddoola emitwalo 20 okuyimbula omwana nga mulamu.
Agamba nti nga 7, Febwali, 2018, lwe yafuna amawulire nti Suzan Magara yali awambiddwa ng’ali yali Hoima.
Nga 8, Febwali, 2018, waliwo omusajja eyamukubira essimu nga yali ayogera Runyoro nti muwala we amulina era yamusaba akakadde kamu ka ddoola, okuyimbula Suzan Magala nga mulamu.
Wabula nga wayise ennaku 3, aba famire bategeeza omusajja eyali ku ssimu, nti bagenda kumuwa obukadde 100 singa ayimbula muwala omuntu waabwe wabula ssente yazigaana.
Omusajja eyali ku ssiimu, yabategeeza nti ku kakade ka ddoola, abagiddeko emitwalo 5 gyokka egya ddoola era amangu ddala yawa famire Suzan Magara ku ssiimu, okakasa nti ddala omwana amulina.
Wakati mu kuteesa, aba famire baasaba abawambi nti bakkiriza baweeyo obukadde bwa ddoola 20 ( obukadde obuli mu 700).
Omusajja eyali ku ssiimu, yalagira taata Gerald Magara okuteeka ssente ezo mu mmotoka ya mukyala we, egende ku luguudo lwe Masaka, bamutegeeza walina okuteeka ssente ezo wabula alina okwewala okutambula ne Poliisi.
Taata agamba nti bwe yatuuka e Mpigi, yaddamu okufuna essimu, omusajja namulagira okugenda ku kipande ekyaniriza abayingira e Mpigi nti waliwo essimu, gye bagenda okweyambisa, okumutegeeza ekifo walina okuteeka ssente.
Mu kiseera ng’alinda omusajja okuddamu okumukubira essimu okumutegeeza ekifo walina okutwala ssente ne Poliisi eyali emutambulirako, yatuuka.
Amangu ddala, omusajja yaddamu okumukubira essimu ne bamulagira okudda mu Kampala kuba yali alemeddwa okutambulira ku biragiro byabwe.
Nga 17, Febwali, 2018, abawambi baddamu ne bakuba essimu ne balagira Taata Magara okuvuga ssente ng’adda ku luguudo lwe Bombo era ne bamulagira nti bwatuuka e Matugga, alina okulinda bamutegeeza ekiddako.
Nga yakatuuka e Matugga, omusirikale gwe yali agenze naye, yava mu mmotoka era abawambi ne basazaamu ddiiru yonna.
Nga wayise ennaku 2 zokka, ku ssaawa 9 ez’akawungeezi, Taata Magara yaddamu okufuna essimu ne bamulagira okugenda ku ssundiro ly’amafuta erya Hass e Namasuba ku luguudo lwe Ntebe, okugyawo ekitereke ekyali kisindikiddwa muwala we Suzan Magara.
Oluvanyuma lw’okufuna ekirabo mu kabookisi akeeru, taata yasalawo okuyita famire okwekeneenya ekirabo.
Wadde taata Magara yatya okubaawo mu kwekeneenya ekirabo, muwala we omulala yaliwo nnyo era munda mwali muteekeddwamu engalo za Suzan Magara 2 ne Memory Card emu (1) nga kuliko ebigambo “Must watch”.
Nga 24, Febwali, 2018, abawambi bakubira ssenga wa Suzan Magara essimu nti yali aloondeddwa okutwala ssente zaabwe e Busaabala kuba mwanyina Gerald Magara eyali alemeddwa.
Ssenga ng’amaze okutwala ssente e Busaabala, badda awaka okulinda essimu okuyimbula muwala waabwe, kyokka tewali kyakolebwa.
Wabula nga 28, Febwali, 2018, Taata Magara yafuna essimu okuva eri Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ng’amusaba okugenda e Kigo ku luguudo lwa Kampala-Entebbe Expressway okwekeneenya oba omulambo ogwali guzuuliddwa gwali gwa muwala we kuba gwali gutemeddwako engalo 2.
Bwe yatuuka e Kigo, kwe kuzuula nti ddala muwala we, yali attiddwa.
Wabula ku batwate 9 abali mu kkooti, Taata Magara agamba nti talina gwamanyiko.
Olunnaku olwalweero, maama w’omugenzi Immaculate Magara ne muganda w’omugenzi, Regina Ronata Magara n’abo bawadde obujjulizi.
Maama agamba nti mu kiro kya 8, Febwali, 2018, yafuna essimu okuva eri Yakubu Byensi ng’amutegeeza nga bw’alina Susan Magara era yabasaba ensimbi.
Nga 09, Febwali, 2018 yaddamu namukubira ng’amusaba akakadde ka dollar kalamba okubawa muwala wabwe kyokka oluvanyuma yalabirawo nga bamusindikidde obugalo bwa muwala we 2.
Agamba wadde 25, Febwali, 2018 bawaayo ssente, okuddamu okutegeera nga muwala waabwe Suzan yattibwa dda.
Mu basibe, asobodde okutegeerako omu Ismail Bukenya era agamba nti ebitongole byokwerinda byabakwasa omulambo mu 1, March, 2018 ne baguziika e Hoima.
Ate muganda w’omugenzi Regina Magara nga mujjulizi namba 6, agamba nti yeeyakuba ekifaananyi eky’obukadde bwa ddoola 20 obwasindikibwa.
Oludda oluwaabi lukulembeddwamu Irene Nakimbugwe, Kyomuhendo Joseph ne Lilian Omara.
Ate abasibe balina bannamateeka omuli Kumbuga Richard, Peter Wander, Nabukenya Isha ne John Kabagambe.
Oludda oluwaabi, lugamba nti abakwate nga basinzira ku muzikiti gwa Usafi mu Kampala mu Janwali wa 2018, bateesa ku ngeri gye bayinza okuva mu bwavu era ne bakaanya okwenyigira mu kuwamba abagagga mu Kampala oba famire zaabwe nga basaba ssente era Suzan Magala yali ddiiru yaabwe eyasooka.
Okunoonyereza era kulaga nti eyali omukulu mu kutekateeka ddiru, yaliko omuyekera mu kabinja ka ADF, era yali ava Bunyoro era yali ategeera bulungi famire ya Magara nti balina ssente.
Abalala kuliko Yusuf Lubega nga kigambibwa yali mukozi wa nnyina wa Suzan ku Container Village, Kampala.
Suzan Magala yalondolebwa okutuusa e Lungujja bwe yali addayo awaka ne bamuwamba.
Kigambibwa amangu ddala ng’awambiddwa, yatwalibwa mu maka ga Amir Bukenya e Konge-Makindye era gye basinzira okumusalako obugalo obwasindikibwa eri Famire era mbu olwafuna obukadde 700, Suzan Magara yattibwa nga bamutugisa kaveera olw’okusanyawo obujjulizi nti yali ayinza okubalonkoma.
Oludda oluwaabi, lugamba nti bagenda okukwata abakwate ku muzikiti gwa USAFI nga bamaze okweyambisa ssente okugula ettaka, Pikipiki n’ebintu ebirala.
Omusango guno kuliko abakwate Abas Buvumbo, Yusuf Lubega, Hussein Wasswa, Muzamiru Ssali, Hassan Kato Miiro, Hajara Nakandi, Abubaker Kyewolwa, Mahad Kasalita ne Ismail Buckeye.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=LWZ1leQ_3jc