Omukyala Aitana Bonmati asobodde okuwangula Ballon d’Or Feminin mu kiro ekikeseza olwaleero mu ggwanga lya Bufalansa.
Ku myaka 25, asobodde okuwangula Ballon d’Or omulundi gwe ogusoose.
Bonmati yasobola okuyamba eggwanga lya Spain okuwangula ekikopo ky’ensi yonna eky’abakyala mu August, 2023, Spain bwe yakuba Bungereza ggoolo 1-0.
Ggoolo yateebwa Olga Carmona.
Oluvanyuma lw’okuwangula ekikopo, Bonmati yawangula ekya ‘Golden Ball’ ng’omukyala eyasiinga okwolesa omutindo mu World Cup.
Mu World Cup, yasobola okusamba emipiira gyona 7, yateeba ggoolo 3 era yakola ‘assist’ 2, Spain bwe yali ewangula Switzerland ggoolo 5-1.
Yaweebwa ekya ‘UEFA Women’s Player of the Year’ oluvanyuma lw’okuteeba ggoolo 5 okuva mipiira 11 mu Champions League sizoni ewedde.
Mu kirabu ya Barcelona, yasobola okuteeba ggoolo 9 ne’assist 10 mu sizoni ya 2022 – 2023 mu Primera Division.
Mu kiseera kino ali mu kirabu ya Barcelona era okuwangula Ballon d’Or, asobodde okuwangula abazannyi omuli Mary Earps, Georgia Stanway, Rachel Daly ne Millie Bright okuva mu ggwanga lya Bungereza.
Mukwano gwe Alexia Putellas mu kirabu ya Barcelona, yasobola okuwangula Ballon d’Or Feminin mu 2021 ne 2022
Ate omuzannyi Lionel Messi asobodde okuwangula Ballon d’Or omulundi gwe ogwomunaana (8).
Messi nga mu kiseera kino ali mu kirabu ya Inter Miami mu ggwanga lya America oluvanyuma lw’okuva mu Paris Saint-Germain (PSG) sizoni ewedde, yasobola okuyamba eggwanga lye nga Kaputeyini wa Argentina okuwangula ekikopo kya World Cup mu ggwanga lya Qatar mu December, 2022.
Mu Fayino za World Cup, yasobola okuteeba ggoolo 2, omupiira okusobola okugwa 3-3 ate mu Peneti, yateeba ggoolo namba 3.
Ku fayino, yaweebwa ekya ‘player of the match’.
Okuwangula, asobodde okumega abazannyi okuli Erling Haaland owa Man City, Kylian Mbappe owa PSG n’abalala 26.
Ng’ali mu PSG, mu sizoni ya 2022 – 2023, yasobola okusamba emipiira 41, yateeba ggoolo 21 ne ‘assist’ 20.
Mu World Cup mu ggwanga lya Qatar, Messi yateeba ggoolo 2 mu bibinja (group stage).
Okutuuka ku fayino, yasobola okuteeba ku mupiira gwa Australia, Netherlands, Croatia ne Fayino.
Yakwata kyakubiri ku bateebi era yaweebwa ekya ‘Golden Ball’ olw’okwolesa omutindo ogw’enjawulo.
Messi asobodde okuwangula Ballon d’Or mu 2009, 2010, 2011, 2012, 2015, 2019, 2021 ne 2023.
Yawangula Ballon d’Or omulundi ogwasooka ku myaka 22 mu 2009, kyokka oluvanyuma lw’emyaka 14, awezeza Ballon d’Or 8.
Omuzannyi wa Al Nassr era munnansi wa Portugal Cristiano Ronaldo akwata kyakubiri mu kuwangula Ballon d’Or ng’alina 5.
Guno gwe mulundi ogusoose Cristiano obutaba ku ‘list’ y’abazannyi abavuganya okuva mu 2003.
Okuwangula kwa Messi, kabonero akalaga nti ddala omusajja alina talenti
1: Lionel Messi (PSG, Inter Miami & Argentina)
2: Erling Haaland (Man City & Norway)
3: Kylian Mbappe (PSG & France)
4: Kevin De Bruyne (Man City & Belgium)
5: Rodri (Man City & Spain)
6: Vinicius Junior (Real Madrid & Brazil)
7: Julian Alvarez (Man City & Argentina)
8: Victor Osimhen (Napoli & Nigeria)
9: Bernardo Silva (Man City & Portugal)
10: Luka Modric (Real Madrid & Croatia)
11: Mohamed Salah (Liverpool & Egypt)
12: Robert Lewandowski (Barcelona & Poland)
13: Yassine Bounou (Sevilla, Al Hilal & Morocco)
14: Ilkay Gundogan (Man City, Barcelona & Germany)
15: Emiliano Martinez (Aston Villa & Argentina)
16: Karim Benzema (Real Madrid, Al Ittihad & France)
17: Khvicha Kvaratskhelia (Napoli & Georgia)
18: Jude Bellingham (Dortmund, Real Madrid & England)
19: Harry Kane (Spurs, Bayern Munich & England)
20: Lautaro Martinez (Inter & Argentina)
21: Antoine Griezmann (Atletico Madrid & France)
22: Kim Min-jae (Napoli, Bayern Munich & South Korea)
23: Andre Onana (Inter, Man Utd & Cameroon)
24: Bukayo Saka (Arsenal & England)
25: Josko Gvardiol (RB Leipzig, Man City & Croatia)
26: Jamal Musiala (Bayern Munich & Germany)
27: Nicolo Barella (Inter & Italy)
28= Martin Odegaard (Arsenal & Norway)
28= Randal Kolo Muani (PSG & France)
30: Ruben Dias (Man City & Portugal)
Abazze bawangula Ballon d’Or okuva mu 1980
2023 Lionel Messi (Argentina)
2022 Karim Benzema (France)
2021 Lionel Messi (Argentina)
2020 Not awarded due to the 2020 COVID-19 pandemic
2019 Lionel Messi (Argentina)
2018 Luka Modric (Croatia)
2017 Cristiano Ronaldo (Portugal)
2016 Cristiano Ronaldo (Portugal)
2015 Lionel Messi (Argentina)
Abazze bawangula
2014 Cristiano Ronaldo (Portugal)
2013 Cristiano Ronaldo (Portugal)
2012 Lionel Messi (Argentina)
2011 Lionel Messi (Argentina)
2010 Lionel Messi (Argentina)
2009 Lionel Messi (Argentina)
2008 Cristiano Ronaldo (Portugal)
2007 Kaká (Brazil)
2006 Fabio Cannavaro (Italy)
2005 Ronaldinho (Brazil)
2004 Andriy Shevchenko (Ukraine)
2003 Pavel Nedvěd (Czechia)
2002 Ronaldo (Brazil)
2001 Michael Owen (England)
2000 Luís Figo (Portugal)
1999 Rivaldo (Brazil)
1998 Zinedine Zidane (France)
1997 Ronaldo (Brazil)
1996 Matthias Sammer (Germany)
1995 George Weah (Liberia)
1994 Hristo Stoichkov (Bulgaria)
1993 Roberto Baggio (Italy)
1992 Marco van Basten (Netherlands)
1991 Jean-Pierre Papin (France)
1990 Lothar Matthäus (Germany)
1989 Marco van Basten (Netherlands)
1988 Marco van Basten (Netherlands)
1987 Ruud Gullit (Netherlands)
1986 Igor Belanov (Soviet Union)
1985 Michel Platini (France)
1984 Michel Platini (France)
1983 Michel Platini (France)
1982 Paolo Rossi (Italy)
1981 Karl-Heinz Rummenigge (West Germany)
1980 Karl-Heinz Rummenigge (West Germany)
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DCBO5RuvB48