Musajja wa Kabaka akwatiddwa lubona

Poliisi y’e Nakaseke ekutte omusajja ku misango gy’okutta mukyala we Monica Kunihira.

Omukyala myaka 35, abadde mutuuze ku kyalo Butibulongo mu ggoombolola y’e Wakyato.

Okunoonyereza kulaga nti, ku ssaawa 2 ez’okumakya olunnaku olw’eggulo, ssemaka Katongole Rashid yasangiriza mukyala we ng’ali mu kaboozi n’omusiguze ategerekeseeko nga Musajja wa Kabaka nga yenna akanudde amaaso ssaako n’okweyambisa engalo okusimuula entuuyo, mita 10 zokka okuva awaka.

Katongole yatabukidde musajja wa Kabaka okuzanyira ku mukyala we era wakati mu kulwana, musajja wa Kabaka yasobodde okusinza amaanyi era yaddukiddewo.

Wabula Katongole olw’obusungu, yazze ku mukyala we era yamukubye emiggo, empi, ebikonde n’ensambaggere okutuusa lwe yasigadde ng’ali mu mbeera mbi.

Abatuuze mu kutekateeka, okuddusa omukyala mu ddwaaliro ekkulu e Nakaseke, yafiiriddewo.

Mu kiseera kino, Poliisi ekutte ssemaka Katongole, omulambo gw’omukyala gwasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Nakaseke okwekebejjebwa nga n’okunoonya omusiguze musajja wa Kabaka kutandikiddewo.

ASP Twiineamazima Sam, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, alabudde abafumbo ku ky’okutwalira amateeka mu ngalo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=1nADC5ieo-s