Ow’ejjambiya eyasimatuse okuttibwa, Poliisi emwogezza ebyama.

Vidiyo y’ababbi eri mu kutambula, ku mikutu migatta abantu omuli WhatsApp, Twitter n’emirala, eyongedde okweralikirizza bangi ku bantu mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo.

Mu kunoonyereza, kulaga nti ababbi baabadde mu zzooni ya Sempagala, e Ntinda mu Kampala ku ssaawa 4:30 ez’ekiro ku Lwokubiri nga 31, October, 2023.

Bakwatiddwa Poliisi eyabadde mu kulawuna obudde obw’ekiro nga yabadde ekulembeddwamu Sergeant Isabirye Joshua.

Abakwate, baabadde ku Pikipiki namba UFX 639Y nga bali basatu (3).

Bano, baayagadde okudduka era bagezezaako n’okutomera emmotoka ya Poliisi ne babagoba okutuusa webabakwatidde okumpi ne kkanisa ya Abed Bwanika.

Omusajja eyabadde avuga Pikipiki yasobodde okudduka, okwewala emiggo gya Poliisi n’abatuuze.

Abakwate abaawonye okuttibwa kuliko Onganyi Sukura myaka 19 nga mutuuze we Kamwokya ne Kamira Derick myaka 23 nga mutuuze we Kiyembe, Makindye.

Mu kwekebejja Kamira, yasangiddwa ng’alina ejjambiya empya.

Wabula Kamira awulirwa mu vidiyo ng’agamba nti waliwo munaabwe eyabawadde omulimu nga waliwo omusajja amwagalira omukyala nga balina okumukolako.

Abakwate olw’okuba baakubiddwa nnyo, bali kufuna bujanjabi ku China Hospital Naguru wakati mu bukuumi.

Pikipiki yaabwe UFX 639Y ne Ekiso, Poliisi ebirina ng’obujjulizi.

Mu kiseera kino okunoonya banaabwe kuli mu ggiya nnene n’okutekateeka okugenda mu maka gaabwe okwekebejjebwa.

ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti essaawa yonna bagenda kubatwala mu kkooti.

Ate abatuuze omuli n’abali mulimu gwa bodaboda bagamba nti ababbi beyongedde mu kitundu kyabwe nga batambula n’ebisi omuli ejjambiya.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=WQnOuYIB5ik