Poliisi y’e Luweero ekutte direkita w’essomero ku misango gy’okusobya ku muyizi wakati wa September 2023 ne October, 2023 ku kyalo Kakokolo ne Kikubajinja mu disitulikiti y’e Luweero.

Jona Sebamanya, Direkita wa Kings palace primary school yakwatiddwa.

Nga 25, October, 2023, Poliisi yafunye lipooti okuva mu baana mukaaga (6) nga balumiriza Direkita Sebamanya okubasobyako.

Abaana bali wakati w’emyaka 13 – 17.

Poliisi egamba nti abaana baasindikiddwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa okuzuula ekituufu.

Alipoota z’eddwaaliro ziraga nti abaana 3 okuli myaka 17, 14 ne 15, kituufu baasobezebwako.

Abaana bonna bayizi ku  Kings palace primary school e Luweero era bonna bali mu kibiina kya musanvu (P7|).

Mu kiseera kino Poliisi erinze ebiwandiiko byazadde okuzuula emyaka gy’abaana emituufu.

ASP Sam Twiineamazima, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Savannah agamba nti Direkita Ssebamenya asindikiddwa ku kitebe kya Poliisi e Luweero nga Poliisi bwenoonyereza okuzuula ekituufu.

ASP Twiineamazima agamba nti waliwo omusajja aliira ku nsiko naye Poliisi eri mu kunoonyereza.

Wadde Poliisi eri mu kunoonyereza, waliwo ebigambibwa nti okuleeta abaana 6 nga bonna balumiriza Direkita Ssebamenya mu kaseera kekamu, kabonero akalaga nti Poliisi erina okunoonyereza ennyo kuba mulimu empalana y’emirimu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=f0I_Y–zdUo