Omukulembeze w’eggwanga erya Liberia George Weah awanguddwa ku bwa Pulezidenti.

Weah myaka 57akutte essimu era akubidde Joseph Boakai, abadde akulembeddemu oludda oluvuganya, okumuyozayoza okuwangula obwa Pulezidenti.

George Weah

Agava mu kakiiko k’ebyokulonda galaga nti ku bululu ebitundu 99.58% obwakabalwa, Boakai akyakulembedde n’ebitundu  50.89% ate Weah alina ebitundu 49.11%.

Bannansi bagamba nti Weah bwe yali awangula omulonda kwa 2017, yasuubiza okulwanyisa obwavu n’okusingira ddala mu bavubuka, okulakulanya eggwanga, okutumbula talenti n’okusingira ddala mu kisaawe ky’omupiira, okulwanyisa enguzi, okulwanirira eddembe ly’obuntu naye byonna alemedwa.

Pulezidenti omulonde Boakai

Okulonda kwabadde kwakudibwamu ng’omwezi oguwedde ogwa October, 2023, wadde Weah yali awangudde okulonda, yalemwa okuweza ebitundu 50 n’akalulu kamu (1) ku 100 nga yafuna ebitundu 43.83% ate Boakai yakwata kyakubiri n’ebitundu 43.44%.

Kigambibwa Boakai okutta omukago n’abantu abali mu kalulu omuli eyakwata namba 3, 4 ne 5, y’emu ku nsonga lwaki yasobodde okuwangula Weah.

Namukadde Boakai myaka 78, yaliko omumyuka wa Ellen Johnson Sirleaf, eyali Pulezidenti wa Liberia okuva mu 2006 – 2018 era Pulezidenti omukyala eyasooka okulondebwa mu Africa ng’ayise mu kalulu, alaze nti ddala ayagalwa abantu.

Bannansi bali mu ssanyu

George Weah, yali musajja wa mupiira nnyo era ye muzannyi yekka mu Africa eyali awangudde Ballon d’Or.

Weah yasambirako kirabu ez’enjawulo e Bulaaya omuli Paris Saint-Germain, AC Milan, Chelsea, Monaco ne Manchester City mu myaka 18 gye yamala ng’asamba.

Eyali omutendesi wa Arsenal, Arsene Wenger yeyasooka okumutwala e Bulaaya mu 1988 mu kirabu ya Monaco.

Mu kiseera kino, mutabani we Tim Weah asambira mu Juventus mu ggwanga lya Italy ate ogw’ensi, asambira eggwanga lya America.

Ekya mutabani we Tim Weah, okusambira eggwanga lya America, bangi ku bannansi bagamba nti kabonero akalaga nti kitaawe talina mutima gwa ggwanga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ScaGKaPNEvw