Kkooti y’omulamuzi asookerwako e Nakawa eriko abantu 3 abasindikiddwa ku limanda ku misango gy’okutaataganya obujjulizi oluvanyuma lw’okutta eyali omusuubuzi w’omu Kampala Henry Katanga.

Abasindikiddwa ku limanda kuliko Patricia Kakwanza, nga mukyala musuubuzi era nga mutuuze we Mbuya e Nakawa, Charles Otai nga musajja musawo era nga mutuuze w’e Kireka B Cell e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso ne George Amanyire, ng’abadde mukozi maka g’omugenzi era mutuuze ku Chwa 2 Road e Nakawa.

Omugenzi Henry Katanga ne mukyala we Molly Katanga

Emisango, gibasomeddwa omulamuzi Erias Kakooza era bonna basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 4, omwezi ogujja ogwa December, 2023.

Okunoonyereza kulaga nti nga 2, Omwezi guno ogwa November, 2023 e Mbuya ku Chwa 2 Road e Nakawa, omusuubuzi Kakwanza alina ebintu bye yagya mu kifo webattira Katanga, okutaataganya obujjulizi obuyinza okweyambisa mu kunoonyereza.

Abavunaanibwa mu kkooti

Kigambibwa, Kakwaza yakola byonna ng’ali ne Nkwanzi Martha Katanga, nga mu kiseera kino aliira ku nsiko.

Okunoonyereza, era kulaga nti Nkwanzi Martha Katanga n’omusuubuzi Kakwanza Patricia, balina oluganda ku mugenzi Henry Katanga, eyakubwa amasasi agamutirawo mu makaage e Mbuya.

Ate Omusawo Charles Otai ne George Amanyire, eyali omukozi w’awaka, bali ku misango gy’okuyambako, abalina okuvunaanibwa okudduka.

Bonna aba 3 bali ku misango gye gimu okuli n’omukyala Molly Katanga ali ku misango gy’obutemu egy’okubba bba Katanga.

Wabula omwana Tricia Katanga, eyayitibwa nga kitaawe attiddwa, kigambibwa agenda kweyambisibwa okuwa obujjulizi ku nnyina Molly Katanga ne muganda we Martha Katanga ku by’okutta kitaawe.

Nga 4, omwezi ogujja, kkooti lw’egenda okusalawo oba abakwate, bakkirizibwa okweyimirirwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=OkEeHdO3gZU