Eyali Minisita omubeezi wa Tekinologye George William Thembo Nyombi alondeddwa, ng’akulira ekitongole ekivunanyizibwa ku mikutu gy’empuliziganya mu ggwanga ki Uganda Communications Commission (UCC).
Nyombi Thembo nga musajja wa NRM, agenda kudda mu bigere by’omukyala Irene Kaggwa, abadde akola nga ssenkulu mu kifo ekyo.

Irene Kaggwa

Thembo Nyombi, yaliko omubaka wa Palamenti e Kassanda South mu disitulikiti y’e Mubende mu 2001 era yaliko Minisita omubeezi w’akanyigo k’e Luweero, yaliko Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza n’emizannyo.

Ekizimbe kya UCC mu Kampala

Yali yawasa omukyala Prisca Mashengyero Thembo wabula ku Lwomukaaga nga 28, July, 2012, ku ssaawa 4 ez’ekiro, omukyala yafiira mu kabenje k’emmotoka e Bwebajja ku luguudo lwa Kampala – Entebbe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=A8J0pNlsmrU&t=1s