Bannamateeka babasibe, abali ku misango gy’okutta omugagga Henry Katanga, batabukidde mu kkooti, nga bawakanya obukodyo bwa Gavumenti okukyusa abawaabi mu kkooti, ekibalemesa okufuna obwenkanya.

Ku ntandikwa y’omwezi guno, bannamateeka babasibe okuli muwala w’omugenzi Patricia Kakwanza nga mukyala musuubuzi era nga mutuuze we Mbuya e Nakawa, Charles Otai myaka 31 nga musajja musawo era nga mutuuze w’e Kireka B Cell e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso ne George Amanyire myaka 30, nga yali mukozi mu maka g’omugenzi era mutuuze ku Chwa 2 Road e Nakawa, baasaba kkooti okubakkiriza okweyimirirwa.

Bali mu kkooti

Aba basatu (3) bali ku misango gy’okubuzaawo bujjulizi, Katanga bwe yali attiddwa nga 2, November, 2023 e Mbuya.

Enkya ya leero, bakedde mu kkooti nga basuubira omulamuzi wa kkooti e Nakawa Erias Kakooza okuwulira okusaba kwabwe, okweyimirirwa.

Wabula oludda oluwaabi lusobodde okusindika omuwaabi omulala Wakoli Samalie nga mupya musango ogwo, era asabye kkooti obudde okwekeneenya ebiwandiiko by’abasibe, abetaaga okweyimirirwa.

Ekyo, kitabudde bannamateeka babasibe nga bakulembeddwamu Dusman Kabega, nti Gavumenti etandiise okuzannya obuzannyo bw’okulemesa abantu baabwe okweyimirirwa nga bukya batuuka mu kkooti, bakakyusa abawaabi ba mirundi 3.

Wabula omulamuzi Erias Kakooza akkiriza okusaba kw’oludda oluwaabi era ayongezaayo omusango okutuusa nga 8,January, 2024.

Ebirala ebifa mu ggwanga mu mwaka 2023- https://www.youtube.com/watch?v=ub38RdLayK4