Eyabaddewo ng’omutemu akuba Pasita Bugingo amasasi abotodde ebyama
Poliisi ya Kampala Mukadde etandiise okunoonyereza ku batemu abaakoze obulumbaganyi ku Pasita Aloysius Bugingo.
Pasita Bugingo, yakulembera ekkanisa ya the House of Prayer Ministries era yalumbiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku ssaawa nga 3 ez’ekiro.
Abatemu baakubye emmotoka ya Pasita Bugingo namba ‘PRAIZ GOD’ e Namungona, Zone 2 e Kasubi mu Divizoni y’e Rubaga mu Kampala ku nkulungo y’e Bwalakata ku luguudo lwa National Housing.
Okusinzira ku Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Muhumuza Richard abadde omukuumi wa Pasita Bugingo yafiiriddewo ate Pasita Bugingo wadde yalumiziddwa, yasobodde okuvuga emmotoka okudduka mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okufuna obujanjabi.
Owoyesigyire agamba nti wadde Pasita Bugingo ali mu ddwaaliro, Poliisi emutaddeko amaaso, okutangira oba okwerinda abatemu abayinza okulumba eddwaaliro.
Omulambo gwa Muhumuza gukyali mu ddwaaliro e Mulago.
Mu kiseera kino Poliisi ezinzeeko ekifo ekyakoleddwamu ettemu okuzuula ebiyinza okuyambako mu kunoonyereza.
Owoyesigyire agamba nti Poliisi egenda kweyambisa kkamera eziri ku nguudo, okuyambako mu kuzuula abatemu, abaliira ku nsiko mu kiseera kino.
Wabula omu ku mukyala eyabaddewo ng’ettemu likolebwa, wakati mu kutya, agamba nti Pasita Bugingo, yagezezaako okugoba omutemu n’emmotoka okumutomera naye omutemu yasobodde okudduka.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=-UA3xZvosUk