Poliisi mu Kampala ekutte omuvubuka abadde yeegumbulidde okubba abakyala mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo.
Omuvubuka Odongkara Steven myaka 28 nga mutuuze we Bulaga B e Wakiso yakwatiddwa.
Odongkara abadde asaba abakyala omukwano ng’ayita ku Face Book kyokka oluvanyuma abadde atwala ebintu byabwe.
Nga 14, November, 2023, Odongkara yasaba omukyala Namiiro Jemima okusisinkana nga yali yamukwanira ku Face Book.
Oluvanyuma lw’okusisinkana ku kyalo Kasasa Bulaga, bwe yali amuwerekera okudda awaka, Odongkara yasikayo akambe era amangu ddala yafumita omuwala Jemima akambe ku mukono, kwe kutwala ensawo ye.
Jemima myaka 27 nga mutuuze we Najjanankumb yatwala omusango ku Poliisi nga 22, November, 2023 ku ssaawa 4 ez’okumakya.
Mu sitetimenti ku Poliisi, Jemima agamba mu nsawo mwalimu ssente 200,000, ebizigo n’ebiwandiiko ebirala.
Poliisi yakola okunoonyereza okutuusa Odongkara lwakwatiddwa era asangiddwa n’akambe mu nsawo.
Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga alabudde abawala n’abavubuka abanoonya abagalwa nga bayita ku mitimbagano okwegendereza ennyo kuba bangi bakyamu.
Enanga agamba nti Odongkara abadde agufudde mulimu okusaba abakyala omukwano ku Face Book kyokka oluvanyuma abadde atwala ebintu byabwe omuli ssente, amassimu mu bubbi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=-UA3xZvosUk