Omulamuzi wa kkooti e Nakawa, Erias Kakooza, afulumizza ekibaluwa ki bakuntumye ekikwata Martha Nkwanzi, muwala w’omugenzi Henry Katanga.

Mu kkooti enkya ya leero, bannamateeka bonna bakaanyiza nti omukyala w’omugenzi, Molly Katanga akyali mulwadde, nga tasobola kuggya mu kkooti.

Omugenzi Katanga ne mukyala we Molly Katanga

Omulamuzi Kakooza ategeezeddwa nti muwala w’omugenzi Martha Nkwanzi yazaala dda ng’amaze enfunda 3 nga yebulankanya mu kkooti, ate ng’alina emisango gy’alina okuddamu.

Omulamuzi Kakooza akaanyiza ku nsonga ezo, era alagidde omuwala Nkwanzi akwatibwe, nga n’omusango gwongezeddwaayo okutuusa nga 22, Janwali, 2024.

Ate ku nsonga y’okuyimbula abakwate nga baasaba okweyimirirwa okuli muwala w’omugenzi Patricia Kakwanza, nga mukyala musuubuzi era nga mutuuze we Mbuya e Nakawa, Charles Otai, nga musajja musawo era nga mutuuze w’e Kireka B Cell e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso ne George Amanyire, nga yali mukozi maka g’omugenzi, omulamuzi Kakooza agamba nti fayiro yasindikiddwa mu kkooti enkulu okwekeneenya ensonga zaabwe kuba bali ku misango gya naggomola.

Abakwate mu kkooti

Omugenzi yattiddwa nga 2, November, 2023 e Mbuya mu Kampala mu makaage nga kigambibwa, yattibwa mukyala we Molly Katanga, akyali omulwadde.

Munnamateeka Kabega Dusman, yakulembeddemu oludda oluwawabirwa ate  Jonathan Muwaganya yakulembeddemu oludda oluwaabi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=LO0tuo6itYc