Omusajja atabukidde muganzi we
Abaagalana bafunye obutakaanya nga bali mu loogi, ekivuddeko omusajja okutta omukyala we era Poliisi wetuukidde okutaasa ng’omukyala attiddwa.
Omusajja Nickson Wamani nga mutuuze ku kyalo Kyatiri mu Tawuni Kanso y’e Kyatiri e Masindi, yakwatiddwa ku by’okutta muganzi we Darlson Ajulera myaka 26, abadde omutuuze ku kyalo Kabaale, mu ggoombolola y’e Kabaale mu disitulikiti y’e Hoima.
Omusajja yasobodde okupangisa loogi mu katawuni k’e Kyatiri, era yakubidde muganzi we essimu, ng’amulinze okusinda omukwano.
Kigambibwa, omukyala bwe yatuuse mu loogi, yagaanye ensonga z’okwesa empiki, ekyavuddeko omusajja okunyiiga ssaako n’okuwanyisiganya ebigambo.
Olw’obusungu, yakutte omukyala namutuga, era abakozi ku loogi webatuukidde okutaasa omukyala eyabadde akuba enduulu n’okusaba obuyambi , ng’oluggi, balusibidde munda.
Poliisi yayitiddwa, era weyatuukidde ng’omukyala attiddwa, omulambo guli ku kitanda nga n’omusajja Wamani, awungidde mu loogi olw’okutta omuntu abadde mukyala we.
Wabula Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, agamba nti omusajja atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Masindi ku misango gy’okutta omuntu.
Hakiza, agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza ekituufu, ekyavuddeko omusajja okutta muganzi we.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ZOn1cW1e1KE