Poliisi egamba nti egenda kunoonyereza okutuusa nga bazudde ekyavuddeko okutta Omutaka Lwomwa, Yinginiya Daniel Bbosa, abadde omukulu w’ekika ky’Endiga.
Ying Bbosa yakubiddwa amasasi akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku ssaawa nga 12 bwe yabadde yakatuuka ku kikomera ky’amakaage mu zzooni y’e Kikandwa e Lungujja mu Lubaga.
Yabadde mu mmotoka ekika kya Land Cruiser Nnamba UAH 637X ng’ali ne mukyala we Gladys Bbosa n’omwana waabwe omuto kyokka ekirungi bo abazigu tebabatusizaako bulabe.
Ying Bbosa yabadde ava mu disitulikiti y’e Mukono ku mukolo gw’okulambula n’okukyalira ku w’essiga Ssekkoba Stephen Sserunkuuma.
Omukolo bwe gwawedde, Bbosa yalinye emmotoka okudda awaka ne famire ye era kigambibwa, abatemu bazze bamulondoola okuva e Mukono okutuusa okumukuba amasasi okumpi n’amakaage.
Abasse Omutaka Bbosa baabadde ku Pikipiki era kigambibwa emmotoka bwe yayimiridde babaggulirewo, omutemun yavudde ku Pikipiki n’akuba Ying Bbosa amasasi n’addamu okubuukira Pikipiki okudduka.
Ekirungi, waliwo aba bodaboda abaabadde okumpi, bwe baawulidde amasasi ne bagoba Pikipiki y’abatemu paka bwe baabakwatidde mu zzooni ya Bulange okumpi n’amaka g’omugenzi Polofeesa Apollo Nsibambi.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano ASP Luke Owoyesigyire, omutemu omu yattiddwa ate omulala ali mu mbeera mbi era yatwaliddwa Poliisi.
Abatemu baabadde ku Pikipiki nnamba UEX 754E era Poliisi egamba nti n’emmundu eyakozeseddwa mu ttemu yazuuliddwa.
Oluvanyuma lw’okutta omutaka Bbosa, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter, okutegeeza Obuganda, “Nfunye amawulire g’okutemulwa kw’Omutaka Lwomwa Daniel Bbosa, omukulu w’Ekika ky’Endiga, akubiddwa amasasi ng’atuuka ewuwe e Lungujja akawungeezi ka leero. Tetunnamanya bali mabega w’ettemu lino. Ebirala tuggya kubitegeeza Obuganda nga tubitegedde. Kitalo nnyo nnyini. Omwoyo gw’omugenzi Mukama agwanirize“.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=UsjbYcq8FRg