Poliisi eyongedde okuzuula ebikwata ku musajja omubbi Muwanguzi Isaac myaka 21, eyakwatiddwa ku misango gy’okubba ‘Number Plate’ ku bidduka.
Muwanguzi yakwatiddwa Poliisi y’e Kabowa era okunoonyereza kulaga nti mutuuze ku Salama Road.
Okunoonyereza era kulaga nti omubbi Muwanguzi, abadde yeegumbulidde okutigomya abatuuze Kabowa, Makindye ne Salama okubba ‘Number Plates’ n’ebyuma ku mmotoka.
Abadde alekawo ennamba y’essimu, omuntu yenna gwabyeko ebintu bye, okusindika ssente okubizza.
Okusinzira ku Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Muwanguzi abadde musajja mubbi nnyo era yasangiddwa ne ‘Number Plate’ eziri 30.
Owoyesigyire agamba nti essaawa yonna bamutwala mu kkooti, nga Poliisi efundikidde okunoonyereza.
Ate Poliisi mu Kampala ekutte omusirikale PC Ahabwe Michael ku misango gy’okudduka mu Poliisi oluvanyuma lw’okubba Pikipiki.
Omusirikale Ahabwe, yadduka ku CPS mu Kampala nga yakabba Pikipiki ya Walusimbi Samuel.
Pikipiki yali ekwatiddwa mu kikwekweeto kya Poliisi ne bagiwa omusirikale agitwale ku CPS mu Kampala, nga 4, march, 2022 wabula yadduka ne Pikipiki ne Poliisi nagivaamu.
Yava mu Kampala, yaddukira mu bitundu bye Mbarara, neyeegata ku kitongole ekikuumi ekya SGA Security Company era yabadde asindikiddwa ku mulimu nga 20, Janwali, 2024 ku Uganda Electricity Transmission Company Ltd gy’abadde akuuma.
Ng’ali ku mirimu, yenyigidde mu kubba waya, okutuusa lwe yakwatiddwa era essaawa yonna bamutwala mu kkooti ku misango gy’okubba waya, Pikipiki n’okudduka mu Poliisi.
Bwe yasimbiddwa mu kkooti ku Buganda Road mu maaso g’omulamuzi Sienna Owomugisha, yasindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 11, March, 2024.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=e3Q6e7woPks