Poliisi etandiise okunoonyereza ku mbeera eyavuddeko omuntu omu okufa ku kivvulu ky’omuyimbi Lydia Jazmine ku Lwokutaano nga 1, March, 2024.
Mu kunoonyereza, Poliisi egamba nti eyattiddwa ye Bonus Aine Akankwatsa.
Aine abadde omukozi ku UBC kyokka yaliko omukozi ku Uganda Communications Commission (UCC).
Kigambibwa yakubiddwa ababbi bwe yabadde agezaako okuyingira Hotel Africana, okulaba ekivvulu kya Jazmine ekya ‘Last Born’.
Poliisi egamba nti Aine yakubiddwa nnyo era yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro lya Mulago.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti Poliisi yakutte Kirema Sharif ku misango gy’okuvaako Aine okufa.
Kirema yatwaliddwa ku Poliisi ku Jinja Road.
Owoyesigyire agamba nti Kirema ng’ali mu kaduukulu ka Poliisi, ate yasobodde okulwana n’omu ku basibe, ekiraga nti ddala muntu wa ntalo.
Mu kiseera kino Poliisi egamba nti okunoonyereza kugenda mu maaso, okuzuula abantu bonna abenyigidde mu kutwalira amateeka mu ngalo, ekyavuddeko Aine okufa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=e3Q6e7woPks&t=2s