Poliisi mu Kampala egaanye okuyimbula omusajja eyakwatiddwa ku misango gy’obutemu.
Poliisi egamba nti ku Lwokuna nga 7, March, 2024 ku ssaawa nga 5 ez’okumakya, omukyala Zalwango Mercy yaddukira ku Poliisi ya Jinja Road, okuggulawo omusango gwa mutabani we eyali abbiddwa.
Ku Poliisi, maama Zalwango agamba nti omwana we Ssebadda Shabib mwaka gumu (1) yali abbiddwa okuva awaka kyokka yali asigadde n’omukozi.
Amangu ddala, Poliisi yakwata omukozi, okuyambako mu kunoonyereza.
Wabula Poliisi egamba nti enkera ku Lwokutaano, nga 8, March, 2024, omusajja Nsamba Jonathan yagenda ku Poliisi, okutegeeza nti yaalina omwana.
Nsamba yasaba Poliisi okuyimbula omukozi w’awaka kuba talina musango gwonna.
Yategeeza Poliisi nti omwana ali mu Kikulu Zone, mu Kawempe.
Nsamba yakulembeddemu Poliisi mu Kikulu zone, okuzuula omwana.
Okutuuka mu Kikulu Zone, ng’omwana yateekeddwa wakati mu kitoogo era yabadde amaze okufa nga yenna alaga nti yanywedde nnyo amazzi, ekyavuddeko okufa mu bwangu.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti Nsamba ali mu mikono gyabwe ku misango gy’obutemu.
Owoyesigyire agamba nti aba famire ya Nsamba bavuddeyo nga balaga nti omuntu waabwe aliko ekizibu ku mutwe nga y’emu ku nsonga lwaki abadde mu kkomera ku misango gy’okutisatiisa abatuuze okubatusaako obulabe.
Agamba nti Poliisi, tebayinza kugendera ku bigambo by’abantu, Nsamba balina okumutwala mu ddwaaliro okwekebejjebwa omutwe era mu kiseera kino aguddwako emisango gy’obutemu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=im90Byh59lo