Omusajja Shakif Bwanika asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okusaabalira mu ngeri emenya amateeka mu maka g’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni e Nakasero.

Bwanika myaka 40 nga mutuuze mu zzooni ya Makindye Barracks e Makindye mu Kampala, bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi ow’eddaala erisooka ku Buganda Road, yegaanye emisango gyonna.

Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Martin Nambafu, lugamba nti 30, April, 2024 ku maka g’omukulembeze w’eggwanga lino e Nakasero, Bwanika yavuga emmotoka okwagala okuyingira mu State Lodge ku mpaka n’ekigendererwa eky’okutisatiisa n’okunyiiza omukulembeze w’eggwanga.

Mungeri y’emu Bwanika yagezaako okutomera Pte Abas Ssekanjajo, omusirikale wa Special Force Command eyali akuuma ekifo.

Pte Ssekanjajo, yasobola okweyambisa obukugu, okukuba emmotoka emipiira nga Bwanika yalimu n’omukazi munda.

Okunoonyereza kuwedde era Bwanika wakudda mu kkooti nga 29, May, 2024, omusango gwe, okutandika okuwulirwa.

Ate omusajja eyeeyita Yesu, asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Buntuntumula mu disitulikiti y’e Luweero okutuusa nga 29, May, 2024.

Ku Mmande ya wiiki eno, Poliisi yakutte Navas Vella eyeeyita Yesu, akulira ekifo ekimanyikiddwa nga Super Glopper Eden, ku kyalo Luyima e Katikamu mu Luweero.

Vella yakwatiddwa n’omugoberezi omu eyeeyita  El-Shadai Gracia.

Bano, bagaanye okubalibwa nti bbo si baansi eno, Gavumenti yaabwe eri mu Ggulu era tebayinza kuddamu kubalibwa nga baabalibwa dda.

Navas Vella mu kkooti

Wabula nga bali mu kkooti y’omulamuzi w’eddaala erisookerwako e Luweero Christopher Tindyebwa Adyeeri, Yesu nga bwe yeeyita, akkiriza nti kituufu tayinza kuddamu kubalibwa.

Mu kusooka, agyemedde omulamuzi ku ky’okugyako enkofiira ye era bwatyo omusirikale w’ekkomera yasobodde okugimugyako.

Olw’okuba bakkiriza emisango ate ng’oludda oluwaabi lukyanoonyereza, omulamuzi abasindise ku limanda.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=RTyoKFNEVI4