Poliisi y’e Wakiso ekutte ssemaka ku misango gy’okutta mukyala we.
Poliisi yayitiddwa ku Ssande ku ssaawa nga 4 ez’okumakya nti waliwo omukyala attiddwa ng’omulambo guli mu luggya.
Okunoonyereza kulaga nti ku ssaawa nga 3 ez’ekiro ku Lwomukaaga, Ssemaka Ssekanjako Mesach yakutte mukyala we Nakyanzi Proscovia myaka 35 abadde akolera mu katawuni k’e Masulita ng’ali mu kaboozi.
Nakyanzi yali mu kaboozi n’omusiguze ategerekeseeko erya Ivan, omuvuzi wa bodaboda mu kitundu ekyo mu kisenge kya Ssekanjako.
Ssekanjako wakati mu kulwana oluvanyuma lwa Ivan okudduka, yakwata akambe keyafumita omukyala mu lubuto.
Ku Ssande, Poliisi yayitiddwa era yaleese embwa ezikonga olusu, eyakulembeddemu abasirikale okutuuka mu maka ga nnyina wa Ssekanjako, Namata Robinah.
Poliisi egamba nti Ssekanjako yasangiddwa lubona ng’ayoza empale egambibwa nti yabadde eriko omusaayi.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti Poliisi ekutte Ssekanjako ku misango gy’okutta mukyala we ne nnyina Namata eyabadde agezaako okukweka mutabani we.
Owoyesigyire agamba nti essaawa yonna bagenda kubatwala mu kkooti amangu ddala ng’okunoonyereza kuwedde.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=scl4TxBgeXc&t=252s