Ssemaka Rogers Ngobi myaka 26 akwatiddwa ku misango gy’okuyiira omukyala asidi.
Ngobi, musomesa ku Eagles Nest secondary school, e Mmengo mu Kisenyi era mutuuze ku kyalo Namusera mu disitulikiti y’e Wakiso.

Olunnaku olw’eggulo, yayiiridde mukyala we Shallot Kwagala 30 n’abaana 2 asidi ne ssenga we.
Abaana kuliko
-Elvis Mukisa 6
-Elijah Mununuzi 3
-Ssenga Mwima Lovisa myaka 47
Kwagala ng’alina olubuto myezi 5 yayokeddwa nnyo ku
– Mutwe, ffeesi, amabeere, omugongo, n’ekiwato.
Elvis Mukisa yayokeddwa mu ffeesi n’amaaso
Lovisa Mwima (ssenga) yayokeddwa ku mukono gwa ddyo ate Elijah Mununuzi, asidi yamusamukidde.
Kigambibwa, olukiiko lwatudde kyalo Kwagala mu Tawuni Kanso y’e Buyengo e Jinja, ogonjoola obutakaanya wabula baalemeddwa okukaanya olw’obutakaanya obuludde wakati waabwe.
Kwagala ne Ngobi, babadde mukwano okuva mu November, 2023.
Omukwate Ngobi ali ku kitebe kya Poliisi e Kakira ku misango gy’okwagala okutta abantu.
James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira, agamba nti Kwagala, abaana ne Ssenga bali mu ddwaaliro ekkulu e Buwenge naye Kwagala ali mu mbeera.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=JS4dtxGc6AE