Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kizimizo mu ggoombolola y’e Serinnya e Mityana, omusajja agambibwa okuba omutujju w’akabinja kya Allied Democratic Forces (ADF) bw’atiddwa.

Ku Lwokubiri ekiro ku ssaawa nga 5, omusajja amanyikiddwa nga Musiramu yakubiddwa amasasi nga yasangiddwa mu kazigo mw’abadde asula.

Neyiba Derrick Senyonga, agamba nti abasirikale bazze nga bali mu Yunifoomu eza bulaaka era baakubye Musiraamu essasi ku mutwe.

Ssenyonga agamba nti Musiramu yabadde mu nnyumba kyokka bwe yagaanye okugulawo oluggi, omusirikale yasambye oluggi ne bayingira munda.

Musiramu yabadde agezaako okudduka, omu ku basirikale yamukubye essasi ku mutwe era yafiiriddewo.

Senyonga era agamba nti nga batuuse awaka, abasirikale baalagidde baneyiba bonna okuyingira mu nnyumba zaabwe.

Senyonga era agamba nti omulambo gwatwaliddwa Poliisi era kigambibwa gwatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Mityana.

Apollo Kironde, akulira ebyokwerinda ku kyalo agamba nti omugenzi abadde mukwano gw’abatuuze nga kizibu okutegeera ensonga lwaki yattiddwa.

Kironde agamba nti omugenzi abadde yakamala ku kyalo ebbanga lya myezi 3 era abadde alina ffaamu y’ennyanya.

Agamba nti baneyiba bangi bayingiddeko mu nnyumba y’omugenzi nga temuli kintu kyonna ekiraga nti ayinza okuba omutujju.

George William Katuramu, Kansala we Serinnya mu ggoombolola y’e Maanyi, asabye ebitongole byokwerinda okuvaayo mu bwangu, okunyonyola lwaki omuntu yattiddwa.

Mu kiseera kino Poliisi tenavaayo okunyonyola ku nsonga ezo.

Ekifaananyi kya Daily Monitor

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rru6SsX1Js0