Omusuubuzi w’omu Kampala yesse, abasuubuzi bali maziga

Abamu ku Bannakampala basabye Poliisi okunoonyereza okuzuula ekituufu ku ngeri abantu gye bazuulibwa nga besse.

Bagamba nti wayinza okuba nga waliwo ekizibu mu ggwanga.

Olunnaku olwaleero ku Golf course, Kampala bazudde omusuubuzi nga yeetugidde ku muti n’omuguwa.

Omusuubuzi ategerekeseenga Bakole Simon myaka 47 okusinzira ku Ndaga muntu esangiddwa mu mpale.

Abadde musuubuzi w’e Nakasero era ng’alina Mobile Money.

Abamu ku batuuze abeerabiddeko, bagamba nti tebayinza kutegeera oba abantu betta oba waliwo abali emabega w’ekikolwa ekyo, eky’okutta abantu.

Mu bbanga kati lya wiiki 3 abantu 4 besse omuli

John Babirukambu ku Tagore apartments, Kampala

Shukla Chiragkumar, Omuyindi ku  Skyz Hotel, Naguru

Hawah Nantongo, abadde omuyizi ku Wampeewo-Ntakke Senior School eyeetidde ku luguudo lwe oludda e Kyanja,

– Kati n’omusuubuzi Bakole Simon.

ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekivuddeko Bakole okwetta.

Poliisi egamba nti basobodde okweyambisa essimu y’omugenzi okuzuula aba famire.

Omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro e Mulago okwekebejjebwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=twNJ5ePBPGg&t=383s