Ekitongole ky’ebyokwerinda ekya UPDF kizeemu okuyimbula abaana abaali bakwatiddwa ne banunulwa okuva mu ggwanga lya Democratic Republic of the Congo wakati mu kulwanyisa abatujju bakabinja ka Allied Democratic Forces (ADF) mu kikwekweeto kya Shujja.

UPDF ng’eri wamu n’amaggye ga Congo, mu kulwanyisa abatujju, yasobola okununula abaana 30 okuli bannayuganda ne bannansi ba Congo omuli abawala n’abalenzi.

Mu baana, mulimu abawambibwa ssaako n’abo, abaludde nga balwana n’abatujju bakabinja ka ADF.

Kuliko

Bannayuganda 17 nga kuliko abalenzi 9

Bannansi ba Dr. Congo  – 13, nga kuliko balenzi 8

Ku ky’emyaka

18 okudda waggulu bali 9

11 – 18 bali 12

Abali wansi w’emyaka 10 bali 9

Abaana bonna, basobodde okutendekebwa ekitongole ki ‘Bridgeway Foundation‘ okubazaamu empisa z’obuntu n’okubateekateeka okubazaayo mu famire zaabwe ate ekitongole ki Amnesty Commission Uganda, kisobodde okuwa ebbaluwa, eziraga nti bagiddwako emisango era basonyiyiddwa.

Col. Deo Akiki, amyuka omwogezi w’amaggye agamba nti ebikwekweto bikyagenda mu maaso okulwanyisa abatujju n’okununula abantu bonna abazze batwalibwa.

Kinnajjukirwa nti

May, 2023, UPDF bawaayo abaana 48

December, 2023 – Bawaayo abaana 75

Leero abaana 30, omugate kati bakawaayo abaana 153

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=bWh_lM-Fa-4